< Back

Mukulikeeyo

Mukulikeeyo

Radio Simba
 
...Description..
 
MUKULIKEEYO RELOADED EPISODE 2.mp3
MUKULIKEEYO RELOADED EPISODE 2.mp3
12/04/2019 | 01:43:17

Episode Notes

Abantu ab'enjawulo okuva nu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo beetabye mu kutambula okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obukenuzi mu Ggwanga nga bakulembeddwamu Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

 
 
MUKULIKEEYO RELOADED EPISODE 1
MUKULIKEEYO RELOADED EPISODE 1
12/04/2019 | 01:47:19

Episode Notes

Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Kampala Catherine Kusasira Sserugga yakiguddeko e South Africa bweyabadde mu kivvulu kya Bannayuganda nagezaako okulumba Bobi Wine ne People Power - Uganda, Bannayuganda bamuweerekerezza ebigambo nebamutegeeza nga bwebakoowa.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 137
MUKULIKEEYO EPISODE 137
11/29/2019 | 01:07:23

Episode Notes

Poliisi yazeemu okukwata omusajja agambibwa okugunjukira ogw'okusobya ku bakazi nga ono abadde yateebwa ku kakalu ka kkooti omwaka oguwedde mu October nga yali avunaanibwa emisango okuli ogw'obubbi, okusobya ku bakazi wamu n'obutemu. Baker Walusimbi yeyazeemu okukwatibwa nga kigambibwa nti yatwala ku bakazi 2 mu motoka okuva mu kibuga wakati nga November 8 wabula bweyatuuka ku luguudo lw'e Entebe nabaako wakyaama nga kigambibwa eno gyeyababbirako byonna byebaali balina ku mudumu gw'emmundu mu ngeri yemu gyeyakozesa mu 2005.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 135
MUKULIKEEYO EPISODE 135
11/28/2019 | 01:13:07

Episode Notes

Olunaku lw'eggulo Nakagubi Jenipher a.k.a Jennifer Full Figure yeyanjudde ku kitebe kya National Resistance Movement - NRM eri abakulira ekibiina kino ku kitebe mu Kampala.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 134.mp3
MUKULIKEEYO EPISODE 134.mp3
11/26/2019 | 01:14:17

Episode Notes

Ababaka abatuula ku kakiiko k'ebyokwerinda n'ensonga z'omunda mu ggwanga tebalabiseeko mu kakiiko kano okusisinkana abakulu okuva mu Poliisi nga bakulemdeddwamu Hon. Kanai ne DIGP Major General Sabiiti Muzeyi. Bano babadde bazze okunnyonyola akakiiko ku mpenda eziteekeddwawo Poliisi okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu ggwanga.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 133
MUKULIKEEYO EPISODE 133
11/25/2019 | 01:09:34

Episode Notes

Omugagga w'omu Kampala Godfrey Kirumira eggandaalo lya wiikendi teryamugendedde bulungi oluvannyuma lw'ebigambibwa nti yakubiddwa mizibu bannamaggye abamulagidde n'okwambulamu engatto nga entabwe eva ku nsonga z'ettaka. Kigambibwa nti abasirikale abamukubye baduumirwa Gen. Angina. Kigambibwa nti Kirumira alina enkayaana ku ttaka eririnaanye woteeri ye eya International Hotel Muyenga eryabadde lisendebwa okuteekawo ekubo.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 133
MUKULIKEEYO EPISODE 133
11/22/2019 | 01:07:23

Episode Notes

Bawannyondo ba Kkooti nga bali wamu ne Poliisi bakedde w'omugagga Bryan White Official nebasika ezimu ku motoka ze ez'ebbeyi wamu n'ebibajje ebibadde mu nnyumba nga entabwe eva ku bbanja lya buwumbi erimulemye okusasula.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 132
MUKULIKEEYO EPISODE 132
11/21/2019 | 01:13:02

Episode Notes

Poliisi mu Kampala ekoze ekikwekweto nga eri wamu ne Flying Squad wamu ne Poliisi ennawunyi bakoze ekikwekweto mu Kisenyi ku luguudo lwa Ring Road mu masekatti ga Kampala mwebazuulidde pikipiki 20 ezigambibwa okubeera enzibe. Bakutte abantu 6 okuyamba mukunoonyereza oluvannyuma lw'okutemezebwako nti edduuka eryo libadde likozesebwa nga 'base' webatundira wamu n'okugula pikipiki enzibe.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 131
MUKULIKEEYO EPISODE 131
11/20/2019 | 01:20:59

Episode Notes

Emirimu gisanyaladde wamu n'ebyentambula okusanyalala ku luguudo oluva ku nkulungo y'e Mulago e wandegeya ne luyita mu Katanga okwolekera Mulago ku bbiri oluvanyuma lwa Poliisi ettegulula bbomu okuziba oluguudo luno. Bino byonna bivudde ku 'cylinder za gas' ezikozesebwa mu kwokya ebyuuma okwepika ne kitandika okutokota nga kino kiviriddeko nannyini kyo okuyita Poliisi eno olwokutya nti kyanditulika ne kituusa obulabe ku bantu. Okusinzira ku bamu ku batuuze b'omu kitundu kino bagamba nti 'cyclinder' zino kyamutuuze munaabwe mu Katanga era abaddenga agikozesa mu kwokya ebyuuma mu 'Garage' ye.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 130
MUKULIKEEYO EPISODE 130
11/20/2019 | 01:18:43

Episode Notes

Abadde akola nga Ssentebe wa National Resistance Movement - NRM owa Disitulikiti y'e Ntoroko Mugume Vincent atiddwa mu bukambwe n'omuntu omulala atanategeerekeka. Bino byonna bibaddewo ku ssaawa musanvu ez'omutuntu nga kirowoozebwa nti bano batemeddwa najjambiya.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 129
MUKULIKEEYO EPISODE 129
11/18/2019 | 01:17:34

Episode Notes

Omulamuzi w'eddaala erisooka ku Kkooti ya Buganda Road Stellah Amabilisi avuddeyo nategeeza nti agenda kugoba emisango egivunaanibwa Andrew Mukasa aka Bajjo Eventz Clear Process okuli ogw'okukuma mu bantu omuliro wamu n'okuvuma Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Munnamateeka wa Bajjo Erias Lukwago avuddeyo nasaba Kkooti egobe omusango guno olw'okuba nti Omuwaabi wa Gavumenti akyalemereddwa okuleeta fayiro y'omusango guno nga agamba nti ekyali ku Poliisi so nga omusango gwatwalibwa mu kkooti mu mwezi gw'omukaaga.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 128
MUKULIKEEYO EPISODE 128
11/14/2019 | 01:14:07

Episode Notes

Eddy Kenzo avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Face Book; "Mukwano ggwange REMA, nkuyozaayoza olw'okutuuka ku lunaku lwo luno nga Katonda bweyakitegeka, nkusabira lukubeerere lulungi. Era nsaba nnyo Katonda osobole okuggalawo amatu go eri ebyogerebwa okutwetoloola kuba okimanyi nti ngenda kubeera mukwano gwo owaddala akwagaliza ebirungi byokka. Manyi bangi kino tebajja kukyagala kuba baagala ntalo naye nzikirizza mu mirembe. 'United we stand divided we fall.' Yogayoga ggwe ne mwami wo, era munnyumirwe kuba Mukama Katonda yeyategeka olunaku luno olw'enjawulo. Alhamdulillah Asalam waleikum"

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 126
MUKULIKEEYO EPISODE 126
11/13/2019 | 01:15:41

Episode Notes

Abavuzi ba Bodabooda enkya yaleero bakedde kugumba ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area nga balinda akulira "Illuminati" mu Yuganda okujja abawe buli omu obukadde 5 bweyabasuubizza bweyabadde ku mukutu gwa TV olunaku lw'eggulo. Kigambibwa nti bano batandise okweyiwa mu kifo kino okuva ku ssaawa mwenda ogw'okumakya nga bamulinda atuuke mu kifo olwaleero ku ssaawa mwenda ez'olweggulo.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 126
MUKULIKEEYO EPISODE 126
11/12/2019 | 01:15:03

Episode Notes

Abakungu oku mu Gavumenti ya Rwanda nga bakulembeddwamu Meeya Claudian Mushabe bakwasizza abebyokwerinda ba Yuganda emirambo gya Bannayuganda babiri abakubwa amasasi ku Sunday nga Poliisi y'e Rwanda egamba nti baali bakukusa bintu kubiyingiza Rwanda. Byonna bibadde mu Disitulikiti y'e Nyagatare.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 124
MUKULIKEEYO EPISODE 124
11/11/2019 | 01:14:40

Episode Notes

Ibrahim Mayanja a.k.a Big Eye StarBoss avuddeyo nayambalira bayimbi banne bwebali mu National Resistance Movement - NRM nga bwebajudde enkwe nefubitizi mu mitima nga kyebakola kyokka kwekulwanyisa banaabwe okulaba nti bakola ensobi bagobwe mu NRM. Big Eye nga ono ava mu Big Talent Entertainment. agamba nti mu bayimbi bonna abali mu NRM, Catherine Kusasira Sserugga yekka yalina omutima ogwagaliza abalala era nga ye yekka eyesigika. Big Eye agamba nti ekigenda okusuula abayimbi abali mu NRM kwagala kulya nakusuula banaabwe nga babatega obutego bbo okusobola okufuna omulyo.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 123
MUKULIKEEYO EPISODE 123
11/07/2019 | 01:19:07

Episode Notes

Okuwulira omusango ogwatwalibwa abategesi b'ebivvulu okuli Bajjo Eventz Clear Process ne Abtex Promotions mu Kkooti enkulu nga bawakanya ekya Uganda Police Force okusazaamu ebivvulu byebaali bategese ebya Bobi Wine neleero kuzeemu. Munnamateeka wabawaaba omusango guno Erias Lukwago agambye nti basabye Kkooti okuwa ensala yaayo nga 25 December terunatuuka kuba zino zibeera nnaku zakukola ssente.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 123
MUKULIKEEYO EPISODE 123
11/06/2019 | 01:15:10

Episode Notes

Jeniffer Fullfigure avuddeyo neyetondera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni byonna byazze amwogerako nti ye yalabye omusana. Ono asabye Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, Bobi Wine n'aboludda oluvuganya Gavumenti abalala okuvaayo betondere Pulezidenti. Ono era yamenye abantu bagamba nti yabasanze bekwese emabega w'oluggi mu State House nga agenze okukima ssente nga ku bano kuliko; Andrew aka Bajjo Eventz Clear Process ne Ssegirinya Muhammad FANS PAGE n'abalala

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 122
MUKULIKEEYO EPISODE 122
11/05/2019 | 01:16:33

Episode Notes

Jennifer Fullfigure omulimu gw'okukunga abavubuka okuwagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu ne National Resistance Movement - NRM agutandikidde mukuwakanyizibwa anti bwagenze ewa Kisekka abavubuka bamutabukidde nebamutegeeza nti bbo bawagizi ba Opposition, Bobi Wine ne People Power - Uganda.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 121
MUKULIKEEYO EPISODE 121
11/04/2019 | 01:18:26

Episode Notes

Abasirikale ba Uganda Police Force abakuuma kukitebe kya Poliisi e Naguru balemesezza Bannamawulire abeegattira mu kibiina kyabwe kya Uganda Journalists Association okweyongerayo okutwala ekiwandiiko kyabwe ekyemulugunya eri omudduumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochola.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 120
MUKULIKEEYO EPISODE 120
10/25/2019 | 01:17:36

Episode Notes

Ab'ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obubbi obw'emmundu wamu n'ekitongole kya CMI kyakutte Mwebaza Nathan ateeberezebwa okwenyigira mu ttemu ly'e Kaliro-Lwengo nga agezaako okutoloka mu ggwanga ayingire e Tanzania nga ayita e Ngarama Isingiro. Yakwatiddwa n'emmundu ya AK47.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 119
MUKULIKEEYO EPISODE 119
10/24/2019 | 01:14:58

Episode Notes

Herbert Shonga aka Habib Shonga yavuddeyo ku mukutu gwe ogwa facebook nawaana Sasha Brighton Kalungi; "Bambi kanyumira mumasuka ameru ngate bu lips bwebwo. Good night from Nalongo wa Salongo.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 118
MUKULIKEEYO EPISODE 118
10/23/2019 | 01:08:44

Episode Notes

Omusumba w'Abalokole Pastor Yiga Augustine alumbye basumba banne abavumirira obusiraamu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 117
MUKULIKEEYO EPISODE 117
10/22/2019 | 01:14:06

Episode Notes

Omutegesi w'ebivvulu Ssewankabo Dickson aka Dick Promotions afudde. Ono yaddusibwa mu ddwaliro lya Novik oluvannyuma lw'okukubwa puleesa bweyali mu kivvulu kya Stabua Natooro ekyali ku Obligato. Ono oluvannyuma yaddusiddwa mu ddwaliro ly'e Kiruddu gyabadde mu 'Intensive Care'.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 116
MUKULIKEEYO EPISODE 116
10/22/2019 | 01:13:28

Episode Notes

Munnamateeka omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu Nicholas Opiyo avuddeyo nategeeza nga abasajja ababiri abenyigira mu kuddamu okukwata abavunaanibwa okutta eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi bwebabategedde. Opiyo agamba nti omu ye Omara Robby RA/230989 nga akola n'ekitongole kya Joint Anti-terrorism Task Force (JATT), ekirwanyisa obutujju mu ggwanga. Omulala ye Sergeant Kanyana Christopher nga naye akolera ekitongole kyekimu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 115
MUKULIKEEYO EPISODE 115
10/17/2019 | 01:12:25

Episode Notes

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'ebintu mu Ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards - UNBS olunaku olwaleero kigaddewo ekkolero lya Boss Beverages International (BBI) Limited erisangibwa e Kireka bano nga bebakola Beckam Gin olwokuba nti layisinsi kwebabadde bakolera yaggwako mu 2015 nga nakabonero k'omutindo aka 'Q-Mark' bakateekako mu bukyamu. erisangibwa e Kireka, makers of Beckam Gin. No photo description available.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 114
MUKULIKEEYO EPISODE 114
10/16/2019 | 01:06:20

Episode Notes

Abakungu okuva mu kitongole ekirwanyisa obuli bw'enguzi n'obukennuzi ekya Anti Corruption Unit - State House Uganda olunaku lwaleero bakutte CAO wa Disitulikiti y'e Napak eyali Alebtong Abdul Mbagwa lwakukozesa bubi offiisi ye nafiiriza Gavumenti ya Yuganda ensimbi. Ono abadde yadduka oluvannyuma lwa Kkooti evunaana abakennuzi okufulumya ekiwandiiko kiba kuntumye. Image may contain: one or more people and people standing

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 113
MUKULIKEEYO EPISODE 113
10/12/2019 | 01:05:46

Episode Notes

Poliisi n'abaduukirize abalala bakyalwana bwezizingirire okutaasa abantu abayinza okuba nga bawonyewo oluvannyuma lw'ekizimbe ekibadde kizimbibwa e Rubaga okuggwamu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 112
MUKULIKEEYO EPISODE 112
10/08/2019 | 01:47:58

Episode Notes

Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga yavuddeyo nategeeza nti Ekivvulu ky'omuyimbi Bobi Wine sikyakubeerayo olunaku olw'enkya wadde nga yabadde yateddeyo ebbaluwa etegeeza ku Poliisi nga bwalina ekivvulu ku One Love Beach Busabala. Poliisi yalabudde omuyimbi Bobi wine ne banne obutagezaako kusaalimbira ku One Love Beach e Busaabala ku lunaku lw’amefuga ga Uganda nga bwebazze besunga. Poliisi egamba nti tefunaanga alipoota ekakasa nti ekifo kino kisobola okutuuza abantu abawera nebatatuukibwako buzibu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 111
MUKULIKEEYO EPISODE 111
10/08/2019 | 01:25:58

Episode Notes

Bobi Wine ne Nubian li bakoze 'reherseals' nga betegekera ekivvulu kyabwe ku Independece ku One Love Beach Busabala kyabatuumye #Osobola.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 110
MUKULIKEEYO EPISODE 110
10/04/2019 | 01:18:25

Episode Notes

Ekkooti enkulu mu Kampala evuddeyo nesala eggoye ku nkaayana z'ettaka wakati w'abatuuze b'e Ssekanyonyi - Mpererwe Kampala n'omugagga Medard Kiconco. Omulamuzi Taddeo Asiimwe bwabadde awa ensala ye agambye nti Kiconco ettaka yaligula mu butuufu okuva ku Paul Katabaazi Bitabareho. Omulamuzi agambye nti abatuuze b'omu Lusanja 147 bebamenyera ennyumba ettaka lyabwe baaligula mu Lusanja mu Disitulikiti ye Wakiso obuyinza nebabufuna ku muntu omukyaamu Crispa Bitarabeho. Omulamuzi agambye nti abatuuze bano bawubisibwa Ssentebe w'ekyalo Kibuuka eyateeka omukono ku ndagaano y'ettaka eriri mu Kampala so nga obuyinza bwe buli mu Disitulikiti y'e Wakiso.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 109
MUKULIKEEYO EPISODE 109
10/03/2019 | 01:23:17

Episode Notes

Poliisi mu Kampala enkya yaleero ekedde ku kwata bavubuka b'ekisinde kya People Power - Uganda eky'omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bano nga babadde bambadde obukofiira obumyuufu mu lukungaana lwa Bannamawulire.

 
 
MUKULKEEYO EPISODE 107
MUKULKEEYO EPISODE 107
10/03/2019 | 01:13:21

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalagira Minisita w'Ebyobulamu Hon. Jane Ruth Aceng okuwera obuduuka b'wddagala bwonna omusangibwa mu malwaliro ga Gavumenti. Pulezidenti Museveni agamba nti okuvaayo n'ekiragiro kino bamaze kumutegeeza nti abasawo mu malwaliro ga Gavumenti ate bebanannyini bwo.

 
 
MUKULIKEEYO 106
MUKULIKEEYO 106
10/01/2019 | 01:10:05

Episode Notes

Bannakisinde kya People Power - Uganda nga bakulembeddwa omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, omwogezi wa People Power Our Power Joel Ssenyonyi, n'ababaka abalala bakubye olukungaana okwogera ku ky'eggye lya Uganda Peoples' Defence Forces - UPDF okuvaayo neriwera obukofiira obumyufu. Bano bagamba nti nga beyambisa Ssemateeka tebajja kulekerawo kwambala nkofiira zino kuba teziriiko kabonero k'amaggye konna.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 105
MUKULIKEEYO EPISODE 105
09/30/2019 | 01:06:42

Episode Notes

Abasibe abaddamu okukwatibwa nga bavunaanibwa okutta eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi bateereddwa ku kakalu ka Poliisi okuva ku SIU-Kireka. Bano bamaze wiiki 2 mukaduukulu ka Poliisi nga bavunaanibwa omusango egyekuusa ku kibiina ky'abayekera ekya ADF. Bano bakudda ku Poliisi nga 11-Oct. Munnamateeka waabwe Anthony Wameeli abavuga abatwala ku Kkooti Enkulu mu maaso g'omulamuzi Henrietta Wolayo okuggalawo fayiro y'omusango Omulamuzi mweyalagirira IGP, AG nadduumira SIU Womanya okuleeta abasibe bano nga balamu oba bafu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 104
MUKULIKEEYO EPISODE 104
09/27/2019 | 01:08:12

Episode Notes

Minisita w'ebyensimbi Matia Kasaija; “Bannayuganda balina omuze gw'okulowooza nti ebyobujanjabi mu Yuganda byabwereere. Ggwe lwala ojja kwerabirako. Ne Mulago, bajja kukugamba nti olina okugula eddagala lino oba liri. Kati lowooza ku baganba baffe abali eri mu nsokolo e Kayunga. Mbu kati olwo mulowooza ku kya Yinsuwa yabyabulamu!"

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 103
MUKULIKEEYO EPISODE 103
09/26/2019 | 01:15:03

Episode Notes

Abadde adduumira Poliisi y'e Hoima Christopher Katumba Kiggundu, yakyuusiddwa ekiro kyajjo nga ebula ssaawa busaawa okulonda omubaka omukyala owa Hoima. Eno yekyuukakyuuka esoose okukolebwa Police Human Resource Director Col Jesse Kamunanwire. Kiggundu yagiddwa e Hoima natwalibwa mu Environmental Protection Police Unit (EPPU). Ono yasikiziddwa Martin Okoyo, abadde DPC w'e Mubende.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 102
MUKULIKEEYO EPISODE 102
09/26/2019 | 01:04:03

Episode Notes

Abawagizi Bamunnakibiina kya Forum for Democratic Change era nga yawagiddwa ne People Power - Uganda Nyakato Asinansi bazinzeeko offiisi z'ebyokulonda nga baagala Ssentebe wa National Resistance Movement - NRM owa Disitulikiti y'e Kayunga Moses Karangwa afulume ekitebe kino era bakebere emotoka ye. Emotoka ya Karangwa efulumiziddwa offiisi eno nga ekulembeddwa emotoka ya Millitary era natwalibwa mu barracks y'Amaggye.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 101
MUKULIKEEYO EPISODE 101
09/24/2019 | 01:12:28

Episode Notes

Omuyimbi Ronald Mayinja avuddeyo nadda mu muyimbi munne Bebe Cool eyavuddeyo namunenya ku ky'okuyimba olumbi bizeemu mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku kivvulu kya Catherine Kusasira Sserugga; "Bebe Cool okusisinkana Pulezidenti agiraba nga deal yakukola ssente. Bebe Cool anyiiga olw'okuba alabika yalimba Pulezidenti nti embeera nnungi kati bwawulira mbyogera mu maaso ge alaba nga ayiwa deal ye. Eky'okuleeta ebifaananyi byange ebikadde, nze ndi musajja Mukulisitaayo sijja kumumalirako nnyo budde, mu Bayibuli tugamba nti Bwe nali omuto, nayogeranga omuto, nakola nga eby'ekito, nalowooza nga omuto, bwenakula nendeka ebyekito. Kyanaku nti Bebe Cool akyalowooza atyo!'

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 100
MUKULIKEEYO EPISODE 100
09/23/2019 | 01:56:03

Episode Notes

Abagambibwa okutta Maria Nagiriinya Gateni wamu ne Kitayimbwa batwaliddwa mu Kkooti ya Mwanga II okutandika okusomerwa emisango okuli ogw'obutemu wamu n'obubbi.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 100
MUKULIKEEYO EPISODE 100
09/23/2019 | 01:56:03

Episode Notes

Abagambibwa okutta Maria Nagiriinya Gateni wamu ne Kitayimbwa batwaliddwa mu Kkooti ya Mwanga II okutandika okusomerwa emisango okuli ogw'obutemu wamu n'obubbi.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 99
MUKULIKEEYO EPISODE 99
09/19/2019 | 01:10:53

Episode Notes

Omukubiriza w'Olukiiko olukulu olw'eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga yavuddeyo nategeeza nti obulwadde obwamutuusa ku kitanda kyava ku Pressure gyeyafuna bweyali agezaako okununula ensimbi obuwmbi 24 ezabibwab mu kuzimba ebbibiro lya Isimba. Kadaga okwogera bino yabadde ku kusaba okwamutegekeddwa okwebaza katonda okumussuusa nga okusaba kuno kwabadde ku Palamenti.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 98
MUKULIKEEYO EPISODE 98
09/18/2019 | 01:07:12

Episode Notes

Mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa munaana (2:00am) Poliisi mu Kampala ekutte Babigambe William (27) nga akukusa enjaga.

Omukwate omutuuze we mutungo zone 4 Poliisi emuyimirizza ku luguudo lwa Kampala Road bwabadde avuga pikiki eyekika kya Bajaj Boxer emyuufu nnamba UEL 023U nga ataddeko ensawo nnamba ey'enjaga.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 97
MUKULIKEEYO EPISODE 97
09/17/2019 | 01:05:46

Episode Notes

Commissioner wa Palamenti Peter Ogwang avuddeyo nategeeza nga Olukiiko olukulu olw'eggwanga bwerwaguze emotoka 150 nga zino zakutambuza abakungu abagenda okwetaba mu lukungaana lwa Commonwealth Parliamentary Conference nga lwakumala enaku 7. Ogwanga agamba nti omukolo gwonna gwamazeewo obuwumbi bw'ensimbi za Yuganda 15 nga kuno kuliko okugula emotoka zino, okuzilongoosa wamu n'enteekateeka yonna.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 96
MUKULIKEEYO EPISODE 96
09/16/2019 | 01:11:21

Episode Notes

Gavumenti ya America nga eyita mu Treasury Department evuddeyo neteeka envumbo ku eyali omuduumizi wa Poliisi ya Uganda Gen. Edward Kale Kayihura nga emuvunaana obukenuzi wamu n'okulinyirira eddembe ly'obuntu. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero Gavumenti ya Amerika egamba nti Kayihura yenyigira butereevu mu kutulugunya abasibe e Nalufenya mu Jinja. Kigambibwa nti Kayihura nga omuduumizi wa Poliisi yalina abantu be beyakulira nga mu kitongole kya Poliisi ekya Flying Squad abenyigiranga mu kutulugunya abasibe e Nalufenya Special Investigations Center (NSIC).

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 95
MUKULIKEEYO EPISODE 95
09/13/2019 | 01:10:44

Episode Notes

Omulamuzi w'eddaala erisooka owa Kkooti ya Kampala Capital City Authority - KCCA olunaku lw'eggulo yagaanye okujja obujulizi ku agambibwa nti yenyigira mu kutta Maria Nagiriinya Gateni wamu ne Ronald Kitayimbwa. Olunaku lw'eggulo abebyokwerinda okuva ku CMI ne Poliisi batutte Johnson Lubega ku Kkooti ya KCCA nga baagala akole sitaatimenti nga akakasa nga bweyenyigira mu kuwamba wamu n'okutta abantu bano. Omulamuzi Valerian Tuhimbise yagaanye nategeeza nti omusibe yabadde aleeteddwa nga obudde bugenze so nga yabadde yetaaga obudde bungi okuwandiika wamu n'okwetegeka. Okusinziira ku balabye ku Lubega abatayagadde kwatuukirizibwa mannya bategeezezza nti yabadde n'ebiwundu ku mikono ekyoleka nti yandiba nga yatulugunyiziddwa abo abamukwata nga baagala akirize.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 94
MUKULIKEEYO EPISODE 94
09/12/2019 | 01:10:13

Episode Notes

Omwogezi w'eggye lya Uganda People's Defense Forces (UPDF) Brig. Richard Karemire avuddeyo nayogera ku kuddamu okukwatibwa kw'abasajja 4 okuli; Yusuf Nyanzi, Jibril Kalyango, Joshua Kyambadde ne Yusuf Mugerwa wamu ne Munnamateeka waabwe James Mubiru. Brig. Karemire agamba nti bano bakwatiddwa aba Joint Security Forces nga bakuumirwa mu bifo ebiri mu mateeka ku bigambibwa nti batambangula eddembe. Ono mu bigambo bye agambye nti Bannayuganda betaaga eddembe era nga abebyokwerinda bakukola kyonna ekisoboka ekiri mu mateeka okulaba nti bakuuma Bannayuganda mu mirembe. Wabula ono agaanye okunnyonyola wa abakwate gyebakuumirwa.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 93
MUKULIKEEYO EPISODE 93
09/11/2019 | 01:05:48

Episode Notes

Abantu 7 bafiriidde mu kabenje n'abalala 11 nebalumizibwa byansusso mu kabenje ka bbaasi akagudde e Namayonjo mu Disitulikiti y'e Nakasongola mu kiro ekikeesezza olwaleero. Okusinziira ku mwogezi wa Traffic Charles Ssembambulidde agamba nti bbaasi nnamba UAQ 643W eya kkampuni ya Roblyn Coaches etomedde loole ebadde ku mabbali g'ekubo nnamba UAX 001Y.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 92
MUKULIKEEYO EPISODE 92
09/10/2019 | 00:57:28

Episode Notes

Ababaka abatuula ku kakiiko k'eddembe ly'obuntu mu Palamenti bazzeemu okuganiibwa okuyingira mu 'Safe House' esangibwa e Nakasero. Omusirikale akuuma wo abategeezezza nti Mukama we akkiriza omuntu omu yekka okuyingira nti bwebaba baagala okuyingira bagenda basabe olukusa okuva ku Minisituley'ebyokwerinda.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 91
MUKULIKEEYO EPISODE 91
09/09/2019 | 01:04:09

Episode Notes

Ebitongole by'ebyokwerinda okuli Poliisi n'Amaggye bazinzeeko ekizimbe e Nateete omugambibwa okubeera abatta abantu. Kino Kidiridde Poliisi okutegeeza nga bweriko abantu 3 beyakutte kubigambibwa nti balina kyebamanyi ku kuwambibwa wamu n'okutemulwa kwa Mariam Nagiriinya Gateni wamu ne Ddereeva we Kitayimbwa Ronald. Image may contain: outdoor

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 90
MUKULIKEEYO EPISODE 90
09/05/2019 | 01:32:33

Episode Notes

David Ebanget aka Producer Washington (Uganda's Finest) Fan Page aleeteddwa olwaleero ng'omujulizi was Gavumenti asooka mu kkooti enkulu e Entebe ey'Omulamuzi Jane Francis Abodo. Washington ategeezezza Kkooti nti, "Oyo omwami yeyatta muganda wange Mowzey Radio. Mumanyi bulungi bulungi bw'afaanana n'erinnya lye ye Troy. Ssekibogo Moses nali mumanyidde emyaka 10 era nga kati ali ne Katonda."

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 89
MUKULIKEEYO EPISODE 89
09/04/2019 | 01:37:29

Episode Notes

Robert Kabushenga avuddeyo ku mukutu gwe ogwa twitter; " Uganda National Roads Authority ne Uganda Police Force, mbasaba muteekewo 'lane' nga zirina kukozesebwa ba Minisita n'Abakungu abalina emotoka ezibakulembera. Mbadde ntomeddwa emotoka ekulembera Hon. Sam Engola (Minister of State Housing) abakuumi be nebantiisatiisa n'okunkuba olw'obutamuviira mu kubo. Nabadde sirina wenzira kuba omugotteko gwabadde mungi."

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 88
MUKULIKEEYO EPISODE 88
09/02/2019 | 01:33:01

Episode Notes

Poliisi evuddeyo netegeeza nti ekutte abasajja baayo nga ebavunaana okwesulirayo ogwa nnagamba mu musango gw'okuwambibwa wamu n'okutuuka okuttibwa kwa Maria Nagiriinya Gateni ne Ddereeva we Kitayimbwa. Poliisi era egamba nti yakutte abantu 3 abalowoozebwa okuba nga bebenyigira mu ttemu lino n'abalala 7 ababadde bagezaako okulemesa okukwatibwa kw'abasatu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 87
MUKULIKEEYO EPISODE 87
08/29/2019 | 01:25:53

Episode Notes

Omubaka wa Mukono Municipality Mp Nambooze Bakireke Betty ne Munnamateeka we Erias Lukwago bakedde kuteekayo musango mu kkooti enkulu nga bawawabira Gavumenti olw'ebikolwa eby'okutulugunya ebyamutuusibwako ab'ebyokwerinda.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 86
MUKULIKEEYO EPISODE 86
08/28/2019 | 01:31:11

Episode Notes

Bishop Samuel Stevens Kazimba Mugalu owa Mityana Diocese alondeddwa kubwa Archbishop bwa Church of Uganda.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 85
MUKULIKEEYO EPISODE 85
08/28/2019 | 01:28:13

Episode Notes

Bwerwali bweruti nga 8-August-2011 Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nakuba ebiragaano ne munne Barbara Itungu Kyagulanyi aka Barbie Kyagulanyi ku lutikko e Lubaga. Leero giweze emyaka 8 bukyanga bakola ndagaano mu bufumbo obutukuvu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 84
MUKULIKEEYO EPISODE 84
08/26/2019 | 01:36:11

Episode Notes

Omulamuzi wa kkooti ejulirwamu mu Kampala Alphonse Owiny Dolo alagidde akulira ekkomera ly'e Luzira okulabikako mu Kkooti olunaku lw'enkya annyonnyole lwaki Sheikh Amir Kinene akyakuumirwa mu kkomera e Luzira so nga kkooti yamuyimbula dda.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 83
MUKULIKEEYO EPISODE 83
08/23/2019 | 01:34:06

Episode Notes

Hon. Roland Mugume Munnakibiina kya Forum for Democratic Change akiikirira Rukungiri Municipality: "Nategeezeddwako nti Hon. Idah Nantaba anoonya bubuddamu mu Canada. Gavumenti ekyogerako ki?" RT Hon. Dr. Ruhakana Rugunda; "Hon. Nantaba taliiwo mu ggwanga era nga ali ku mirimu emitongole, eky'obubuddamu kifu. Nze namukiriza okufuluma eggwanga."

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 82
MUKULIKEEYO EPISODE 82
08/21/2019 | 01:30:27

Episode Notes

Abantu okuva mu West Nile bakedde kwekalakaasa mu Kampala ku Arua Park nga baagala Gavumenti ebannyonyole lwaki abantu abava mu bitundu byabwe battibwa.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 81
MUKULIKEEYO EPISODE 81
08/20/2019 | 01:31:29

Episode Notes

Minisita Kahinda Otafire agamba nti Bobi Wine aleme kuwudiisa bantu nti yatandise People Power. Si yiye era ba ssentebe ba LC1 bebalina obuyinza ku People pOwer olwo amaggye ga Yuganda ne gagikuuma

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 80
MUKULIKEEYO EPISODE 80
08/19/2019 | 01:42:09

Episode Notes

Minisita Hon Anite Evelyn: "Bamafiya, ababbi abali mu Gavumenti basala olukwe okunzita. Batuula obufofofo mu Kampala era nga bapangisizza bantu okunondoola. Bagenze nefulumya olukalala lw'amasimu n'obubaka okumanya byenjogera nebenjogera nabo. Bweffa temutwala omulambo ggwange okugwekebejja."

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 79
MUKULIKEEYO EPISODE 79
08/15/2019 | 01:23:32

Episode Notes

Notes go here

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 78
MUKULIKEEYO EPISODE 78
08/14/2019 | 01:39:49

Episode Notes

Poliisi mu Kampala ekutte abasajja 2 nga babadde n'embuzi 15 mu takisi ezirowoozebwa okuba nga zabiddwa okuva ku mwalo e Ssenyi mu Disitulikiti y'e Mukono. Mukiibi Richard 52, nga ono ddereeva wa takisi ne Ssenyange Richard nga Conductor bonna nga bakolera ku siteegi y'e Nkokonjeru bebakwatiddwa Poliisi nga batambuliza embuzi mu takisi nnamba UBB 395K nga basangiddwa Kabuusu. Bano bagamba nti bapangisiddwa omusajja gwebatamanyi nabagamba bazitwale mu katale k'e Nalukolongo.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 77
MUKULIKEEYO EPISODE 77
08/13/2019 | 01:44:52

Episode Notes

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine munnakisinde kya People Power - Uganda; "Olwaleero guweze omwaka mulumba oluvannyuma lw'ebyaliwo mu Arua. Ku lunaku olwo, kabula kata teserengete ezirakumwa. Muganda waffe Yasin Kawuma yakubwa amasasi agamuttirawo. N'okutuusa olwaleero, obwenkanya tetubufunanga nga abakola ekikolwa kino bavunaanibwa. Tusiima nnyo banaffe abayimiriddewo naffe! Nga tujjukira banaffe abatufuddeko, tulina okuwewaayo okulwanirira eddembe ly'obuntu, obwenkanya wamu n'eddembe."

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 76
MUKULIKEEYO EPISODE 76
08/12/2019 | 01:40:04

Episode Notes

Tamale Mirundi agamba nti abakuba Bobi Wine tebamanyi gwebalumba. Oli mugezi nnyo.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 75
MUKULIKEEYO EPISODE 75
08/08/2019 | 01:40:07

Episode Notes

Mukulikeeyo, Bino byampuna ebya Ziggy Wine bikyalanda. Bituuse ne Mulukiiko olukulu olw'eggwanga. Lunaggwa luno!

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 74
MUKULIKEEYO EPISODE 74
08/08/2019 | 01:35:16

Episode Notes

Piki piki nnamba UDC 434W ekika kya Honda egambibwa okuba nga Ziggy Wine Munnakisinde kya People Power - Uganda ekya Bobi Wine kweyali atambulira nga 21-7-2019 ku luguudo lwa Northern Bypass wakati wa Kalerwe ne Kyebando. Eno etwaliddwa ku CPS mu Kampala okulagibwa Bannamawulire n’oluvannyuma neddizibwa ku Poliisi ya Kira Road awawabirwa omusango kw’akabenje.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 73
MUKULIKEEYO EPISODE 73
08/06/2019 | 01:37:53

Episode Notes

Omwogezi w’amaggye mu Ggwanga UPDF Spokesperson Brig. Richard Karemire avuddeyo nawakanya ebibabadde bitambuzibwa nti Munnakisinde kya People Power - Uganda Kalinda Micheal aka Ziggy Wine nti yagibwamu eriiso, wamu n’okumutemako engalo 2; “ Daily Monitor owa Aug 6, 2019 pg 3. Omusawo eyenyigidde mu kukola Postmortem….. eriiso lya Ziggy wamu n’engalo ze byabaddeko ekyawukana nebyasoose okufuluma nti eriiso lye balikuulamu wamu n’omusalako engalo.”

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 72
MUKULIKEEYO EPISODE 72
08/05/2019 | 01:37:48

Episode Notes

Omubaka w'abakyala mu Kampala Nabiirah Naggayi Ssempala agamba nti Rtd. Col. Kizza Besigye bwaba muteebi ggoolo zamulema dda, emipiira agikuba ku muti y'essaawa akite akati akawe omwana omuto Bobi Wine.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 71
MUKULIKEEYO EPISODE 71
08/02/2019 | 01:34:40

Episode Notes

Abawagizi ba Dr. Stella Nyanzi bavudde mu mbeera oluvannyuma lw'omulamuzi alina okubeera mu musango gwe okulwawo okutandika okumusomera ensala ya Kkooti.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 70
MUKULIKEEYO EPISODE 70
07/31/2019 | 01:30:41

Episode Notes

Omubaka akiikirira abakyala b'e Kampala mu Lukiiko olukulu olw'eggwanga Nabiirah Naggayi Ssempala agamba nti FDC bweba motoak nfu nnyo etakyasobola kumalako lugendo nga tefudde nti ate ekirala bwosimuula ekigambo FDC wasigalawo linnya lya Dr. Kiiza Besigye

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 69
MUKULIKEEYO EPISODE 69
07/30/2019 | 01:47:24

Episode Notes

Abakungu okuva mu maka g'omukulembeze w'eggwanga bavuddeyo nebategeeza akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by'ensimbi aka Public Accounts Committee nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni beyavaayo nasaba 'Salary Advance' yabukadde 19 mu emitwalo 10 era nebawalirizibwa okuzijja ku budget y'omwaka 2016-2017.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 67
MUKULIKEEYO EPISODE 67
07/25/2019 | 01:46:23

Episode Notes

Bannakibiina kya Forum for Democratic Change nga bakulemberwamu Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye nabo bakoze olukungaana mu maka ga Besigye e Kasangati lwebayise State of the People’s Address (SOPA) nga kyebakoze kyefanaanyirizaako olukiiko olukulu olw'eggwanga.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 66
MUKULIKEEYO EPISODE 66
07/23/2019 | 01:45:58

Episode Notes

Tamale Mirundi agamba nti ye tagenda kukiriza kubeera "Munyampi" ku tteeka ly'emmwaanyi nga bbo bakalireeta bali mu wooteri enene bayisa mukka. Agamba nti talina gakubwa bantu nga agenda okubannyonyola ebikwata ku tteeka ly'emmwaanyi.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 65
MUKULIKEEYO EPISODE 65
07/22/2019 | 01:28:59

Episode Notes

Abayimbi okuli Kalifah AgaNaga ne Mary Bata kata bakutule ababaka ba National Resistance Movement - NRM enkizi nga babazinisa amazina bwebabadde balindirira omukulembeze w'eggwanga e Namayumba.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 64
MUKULIKEEYO EPISODE 64
07/19/2019 | 01:48:00

Episode Notes

Jose Chameleone akyalina olugendo lunene nnyo okumatizza Bannayuganda nti takyuuke nga erinnya lye. Musajja wattu alyevuma. Mukulikeeyo

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 63
MUKULIKEEYO EPISODE 63
07/16/2019 | 01:53:08

Episode Notes

Kattikiro Charles Peter Mayiga avuddeyo ku by'ebbago ly'okulima emmwaanyi; agamba nti omuntu eyegulira akateeke ate lwaki asooka kusaba lukusa okukatunda. Awakanya akawaayiro akagamba nti omulimu alina kusooka kufuna lukusa okutunda emmwaanyi.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 62
MUKULIKEEYO EPISODE 62
07/15/2019 | 01:43:02

Episode Notes

Poliisi ekedde kukwata bakyala ababadde bakungaanira ku Bat Valley okugenda ku Lukiiko olukulu olw'eggwanga okulaga obutali bumativu bwabwe eri Omusumba w'abalokole Aloysius Bujjingo eyavaayo nategeeza nti yagumira ekikulukuto kya mukyala we Teddy Naluswa okumala emyaka 10 saako n'obutakomba ku kamukisenge.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 61
MUKULIKEEYO EPISODE 61
07/11/2019 | 01:08:24

Episode Notes

Buli kisesa okisanga Uganda, abalamuzi balya enguzi nga abalina sponsor! MUkulikeeyo!

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 60
MUKULIKEEYO EPISODE 60
07/10/2019 | 01:49:54

Episode Notes

Chameleone nga bweriri erinnya lye temumwesiga nnyo oyo wankyenvu anatera okudda ewaffe - Rogers Mulindwa. Banange ndabye n'erinnya lya Chameleone banange naye sijja kwekyuusa.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 59
MUKULIKEEYO EPISODE 59
07/09/2019 | 01:13:12

Episode Notes

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga avuddeyo neyemulugunya ku bbago ly'etteeka ku kulima emmwaanyi eririmu akawaayiro akalagira oyo yenna ayagala okulima emmwaanyi okufuna layisinsi, yebuuza olwo n'abalunzi b'ente nabo bwebanabasaba layisinsi gunaaba tegujabagidde!?

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 58
MUKULIKEEYO EPISODE 58
07/05/2019 | 01:47:26

Episode Notes

Omwogezi w'ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM Rogers Mulindwa avuddeyo nagamba nti abo bonna abegasse ku bibiina ebirala nga Jose Chameleone bawagizi ba NRM lukulwe nti era balina abawagizi ba NRM bangi mu bibiina nga DP, JEEMA, FDC, UPC n'ebirala

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 57
MUKULIKEEYO EPISODE 57
07/03/2019 | 02:04:50

Episode Notes

Olutalo lwa UTL kati lugenze mu Mawanga, Ofwono Opondo ne Evelyn Anite mu Red Corner vs William Byaruhanga ne Mwesigwa Rukuntana mu Blue Corner. Lunaggwa luno!?

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 56
MUKULIKEEYO EPISODE 56
07/02/2019 | 01:38:05

Episode Notes

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo nasaba Bannakisinde kya People Power okwewala okwenyigira mu bikolwa ebyeffujjo.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 55
MUKULIKEEYO EPISODE 55
07/01/2019 | 01:17:07

Episode Notes

Omuvubuka Muhammad Nsereko avuddeyo nagamba nti Maama we bweyali tanafa yamugamba nti muganda wa Hon. Muhammad Nsereko. Bagenze ku DNA bakebere oba ddala amulinako oluganda.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 54
MUKULIKEEYO EPISODE 54
06/28/2019 | 00:37:48

Episode Notes

Abaana b'okunguudo bavuddyo nebategeeza nti Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'abaana Nakiwala Kiyingi talina kyasobola kubakolako. Bamuyimbidde akayimba ka Bobi Wine.

 
 
MUKULIKEEYO 53
MUKULIKEEYO 53
06/27/2019 | 00:32:35

Episode Notes

Tamale Mirundi yawandiise akatabo akapya ku Bank of Uganda bakayita 'Aban..mpi"

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 52
MUKULIKEEYO EPISODE 52
06/26/2019 | 00:39:32

Episode Notes

Abed Bwanika avuddeyo natabukira Lord Mayor ku musolo gw'amayumba mu Kampala.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 51
MUKULIKEEYO EPISODE 51
06/25/2019 | 01:45:33

Episode Notes

Omubaka kato Lubwama agamba nti abayaaye ba People Power balekerawo okubaleetako olugezigezi kuba nabo beeyiiya kubaawo. Kato Lubwama agamba nti buli omu ayagala kulya tewali kirala.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 50
MUKULIKEEYO EPISODE 50
06/24/2019 | 00:40:48

Episode Notes

Kato Lubwama avuddeyo nagamba nti Full Figure alina emmandwa ku mutwe yetaaga kusamira alekerawo okuwemmula, nti ate Aganaga tamanyi kuyimba yetereeze kuba yesulise.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 49
MUKULIKEEYO EPISODE 49
06/21/2019 | 01:38:50

Episode Notes

Mukulikeeyo ku mirimu. Ebya Bank of Uganda byampuna.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 48
MUKULIKEEYO EPISODE 48
06/20/2019 | 01:53:36

Episode Notes

Minisita owaguno naguli mu offiisi ya Pulezidenti Alhaji Abdul Nadduli avuddeyo nawabula Pulezidenti Museveni nti akwase abavubuka nga Bajjo amaanyi bajja kufunamu eky'okuyiga.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 47
MUKULIKEEYO EPISODE 47
06/20/2019 | 01:42:09

Episode Notes

Omwogezi wa NRM Rogers Mulindwa agamba nti Ssente ezakubibwa zaali zakuyamba opposition, Enanga akiriza nti Poliisi enoonyereza ku ssente ezo ate ye Ofwono Opondo namala egobe mu kibye mbu ssi ssente wabula solar batteries na solar panels. Abaffe ani asiriwaza ani?!Mukulikeeyo

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 46
MUKULIKEEYO EPISODE 46
06/19/2019 | 01:49:33

Episode Notes

Rogers Mulindwa nga ono ye mwogezi w'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement agamba nti mu Bbanka ya Yuganda enkulu mulimu ba Mafia abatawagira Gavumenti nga babadde bakubye obuwumbi 90 obwakwatiddwa okubuwa aba Opposition babukozese mu 2021. Kiri Yuganda

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 45
MUKULIKEEYO EPISODE 45
06/17/2019 | 01:46:20

Episode Notes

Mukulikeeyo ku mirimu ne Kalokopyo Omuwoomo wamu ne Carol Emboosa Kawoomera

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 44
MUKULIKEEYO EPISODE 44
06/15/2019 | 01:38:51

Episode Notes

Bino byampuna nga nnyinimu abba eby'omunnyumba! Naye Yuganda etulazaawa banange. Mukulikeeyo ku mirimu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 43
MUKULIKEEYO EPISODE 43
06/12/2019 | 01:51:11

Episode Notes

Nambooze alina obubaka eri abaana b'omugenzi Lutakome Kayiira ku muddaali ogwabaweereddwa. Mwegendereze!

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 42
MUKULIKEEYO EPISODE 42
06/11/2019 | 01:29:51

Episode Notes

Waliwo embeera etuuka ku baagalana nemusoberwa. Eno Mukulikeeyo tekulekera busungu bwonna.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 41
MUKULIKEEYO EPISODE 41
06/10/2019 | 01:41:09

Episode Notes

Mukulikeeyo ku mirimu egibakooyezza. Naye Ssewungu oba Pulezidenti Museveni yakukola ki?

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 40
MUKULIKEEYO EPISODE 40
06/06/2019 | 01:45:21

Episode Notes

Mukulikeeyo kugibakooya, bigenze bitya kale kati tutiguke ne Kalokopyo omuwoomu saako emboosa kawoomera Carol

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 38
MUKULIKEEYO EPISODE 38
06/05/2019 | 02:12:49

Episode Notes

Mukulikeeyo ku mirimu, naye mu mazima ababeera mu Press Conference za Minisita Nadduli mutegeera byayogera?!

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 37
MUKULIKEEYO EPISODE 37
06/04/2019 | 01:57:15

Episode Notes

Nnyumirwa Mukulikeeyo ne Kolokopyo omuwoomu saako Carol Emboosa Kawoomera. Mbyogedde!

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 36
MUKULIKEEYO EPISODE 36
05/28/2019 | 01:42:32

Episode Notes

Leero mu Program Mukulikeeyo ne Kalokopyo Omuwoomu saako Carol Emboosa Kawoomera bakyaazizza Queen Bella. Mbu Queen Bella akyanoonya gwanazaalira! Abaffe ye Queen Bella alina emyaka emeka? Byonna mu Mukulikeeyo

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 35
MUKULIKEEYO EPISODE 35
05/27/2019 | 01:48:34

Episode Notes

Anti Mukulikeeyo ku mirimu, Abed Bwanika ayagala enongosereza mu tteeka ly'okulonda nti kibeere kyabuwaze omuntu aweza emyaka 18 abeera alina okulonda, agaana okulonda asibwe!

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 34
MUKULIKEEYO EPISODE 34
05/22/2019 | 01:49:30

Episode Notes

Leero luno, Carol Emboosa Kawoomera ne Kalokopyo Omuwoomo bakupirimpya akawungeezi mu ndirimbo y'essanyu. Nnyumirwa

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 33
MUKULIKEEYO EPISODE 33
05/21/2019 | 01:42:11

Episode Notes

Wamma tubuuza singa mubeera mu mukwano omuzibu, osobola okukiriza mukyala wo oba omwami wo okukwoleza akawale akumunda?

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 32
MUKULIKEEYO EPISODE 32
05/21/2019 | 01:50:59

Episode Notes

Mu mazima Speech za Minisita Nadduli olumu zetaagamu Technical Interpreter nga bwagamba. Woliriza otubuulire kyowuliddemu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 31
MUKULIKEEYO EPISODE 31
05/17/2019 | 01:39:07

Episode Notes

Nnyumirwa empaka z'oluzungu wakati wa Hajji Nadduli, Noah Mutebi MP Nakasongola ne Erios Nantaba MP Women Kayunga. Hahahahaha! Nseko buseko

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 30
MUKULIKEEYO EPISODE 30
05/16/2019 | 01:50:37

Episode Notes

Tamale Mirundi akaabidde ku mpewo, agamba nti abasajja bamumanyiira. Kiki ekikaabizza Mirundi? Byonna mu Mukulikeeyo

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 29
MUKULIKEEYO EPISODE 29
05/15/2019 | 02:03:45

Episode Notes

Nnyumirwa the Best Evening Drive show in Uganda ne Kalokopyo omuwoomu nga ali wamu ne Carol Embosa Kawoomera

 
 
MUKULIKEEYO 28
MUKULIKEEYO 28
05/14/2019 | 02:00:09

Episode Notes

Baali bamaanyi nga ensi ebatya, eyali adduumira Boda Boda 2010 kati bamuduumirira mu kkomera e Luzira.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 27
MUKULIKEEYO EPISODE 27
05/13/2019 | 01:38:11

Episode Notes

The best evening drive show. Togiwuliriza wekka wabula yita n'abalala

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 24
MUKULIKEEYO EPISODE 24
05/10/2019 | 02:03:01

Episode Notes

Omukulembeze yenna alina okutuula n'abamuvuganya lwakiri nebanywamu ka chaayi.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 23
MUKULIKEEYO EPISODE 23
05/08/2019 | 01:41:24

Episode Notes

Tonnyumirwa wekka wabula yita ne munno naye agabane ku ssanyu lya kalokopyo Omuwoomu ne Carol Emboosa Kawoomera. Leero luno

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 22
MUKULIKEEYO EPISODE 22
05/07/2019 | 01:45:05

Episode Notes

Tonnyumirwa wekka, Kalokopyo Omuwoomu ne Carol Emboosa Kawoomera. Tosubwa obubaka bw'ekisiibo eri Baganda baffe Abasiraamu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 21
MUKULIKEEYO EPISODE 21
05/06/2019 | 01:44:36

Episode Notes

Baganda baffe abasiraamu tubaagaliza ekisiibo ekirungi. Towuliriza wekka, Don't listen alone.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 20
MUKULIKEEYO EPISODE 20
04/29/2019 | 01:41:02

Episode Notes

Ovudde ku mulimu nga okooye, kati wuliriza Kalokopyo omuwoomu ne Carol Emboosa Kawoomera nga bakuyisa mu lunaku. Bobi Wine asindikiddwa e Luzira.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 19
MUKULIKEEYO EPISODE 19
04/26/2019 | 01:44:55

Episode Notes

It's a Friday, nnyumirwa the Best Evening Drive show ku Afkloud.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 18
MUKULIKEEYO EPISODE 18
04/25/2019 | 01:37:47

Episode Notes

Prison Break Part one; Bobi Wine atolose ku Poliisi ebadde ebisibidde awaka ate mu Part 2 nabaleka e Bugiri. Guno gujja kunyuma. Mukulikeeyo

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 17
MUKULIKEEYO EPISODE 17
04/24/2019 | 01:47:57

Episode Notes

Loole ekika Fiat esaabadde emotoka 5 ku bitaala bya Kira Road, bangi balumiziddwa. Ababaka ba Palamenti boogedde ku nnyonyi Yuganda zeyaguze

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 16
MUKULIKEEYO EPISODE 16
04/23/2019 | 01:52:47

Episode Notes

Ennyonyi za Uganda ebbiri zituuse mu Ggwanga, Ye Tamale Mirundi agamba nti tosobola kugamba nti Amiini yali mubi nga byeyakola byosaanyawo! Nnyumirwa nga odda awaka.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 15
MUKULIKEEYO EPISODE 15
04/22/2019 | 01:54:09

Episode Notes

Nnyumirwa Kalokopyo Omuwoomo ne Carol Emboosa Kawoomera nga bakuyisa mu kawungeezi. Jjukira toyita wosula.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 14
MUKULIKEEYO EPISODE 14
04/19/2019 | 01:56:56

Episode Notes

Abaffe Palamenti ya Yuganda efuuse kiraalo nti buli omu abaffe tulagawa naye. Wamma mwaka ki Good Friday lweyatuuka nga si lwakutaano ne Easter Monday nga nayo teyaliiyo ku monday wakati w'omwaka 2000 - 2019

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 13
MUKULIKEEYO EPISODE 13
04/18/2019 | 01:29:04

Episode Notes

Shiek Muzaata "Abakyala bwebanyiiga batuvuma nti work wambwa, eh abaffe mwagala tuleeta work wa mbuzi!?"

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 12
MUKULIKEEYO EPISODE 12
04/17/2019 | 01:36:10

Episode Notes

Nnyumirwa Mukulikeeyo, Bobi atabukidde omuduumizi wa Poliisi.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 11
MUKULIKEEYO EPISODE 11
04/16/2019 | 01:40:31

Episode Notes

Nnyumirwa Mukulikeeyo, Tamale Mirundi agamba nti alina ente ze zalunda nga yaziwa n'amannya! Nte ki era Mannya ki? Nnyumirwa

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 10
MUKULIKEEYO EPISODE 10
04/15/2019 | 01:48:14

Episode Notes

Mukulikeeyo, Sipiika Alitwala Kadaga akomyeewo mu ggwanga okuva mu ddwaliro e Nairobi.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 9
MUKULIKEEYO EPISODE 9
04/12/2019 | 01:44:11

Episode Notes

Zino zo nseko buseko nga oyingira weekend. Abaffe omuntu akole omulimu gumu oba?

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 7
MUKULIKEEYO EPISODE 7
04/10/2019 | 01:33:53

Episode Notes

Mukulikeeyo mwenna ku mirimu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 6
MUKULIKEEYO EPISODE 6
04/09/2019 | 01:48:24

Episode Notes

Omwogezi wa Poliisi agamba tebawaayo Ransom okuta abalambuzi so nga ye Minisita Kiwanda akakasa kino. Kati ani alimba?

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 5
MUKULIKEEYO EPISODE 5
04/08/2019 | 01:48:06

Episode Notes

Mukulikeeyo ku mirimu.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 4
MUKULIKEEYO EPISODE 4
04/05/2019 | 01:44:01

Episode Notes

Mukulikeeyo ku mirimu. Minisita Aidah Erios Nantaba yayogera oluzungu olusuula n'ebitooke.

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 3
MUKULIKEEYO EPISODE 3
04/04/2019 | 01:40:47

Episode Notes

Mukulikeeyo ku mirimu egibakooya, zino zo nseko buseko kalamba. Tosubwa Mbyogedde

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 2
MUKULIKEEYO EPISODE 2
04/03/2019 | 01:24:18

Episode Notes

The best Evening Drive Show

 
 
MUKULIKEEYO EPISODE 1
MUKULIKEEYO EPISODE 1
04/03/2019 | 01:38:08

Episode Notes

The best Evening Drive Show. Tegezaako n'abalala

 
 
About us Terms and Conditions