< Back

Binsangawano

Binsangawano

Radio Simba
 
Eno Pulogulaamu ekuzuukusa buli kumakya okukutwala kumulimu. Mulimu ebisanyusa ntoko nga; Webwazibidde nga gano gabeera mawulire ag'ekiro ekiyise, Bitabuse nga nago mawulire, Ebinyiizo, Essabo ly'emizannyo, Songa ku nsonga, Uncle Luyuguumo, Opeto, Zubabeeri Maaya n'ebirala. Nnyumirwa
 
BINSANGAWANO EPISODE 137
BINSANGAWANO EPISODE 137
12/04/2019 | 02:07:46

Episode Notes

Abasaabaze abasoba mu 200 bebasobeddwa eka ne mukibira oluvannyuma lw'enkuba etonnye nga enaggwa mu ggulu okuleka nga amazzi okuva mu mugga Nile ganjadde negasala oluguudo lwa Pakwach - Karuma okuliraana Disitulikiti y'e Nwoya.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 136
BINSANGAWANO EPISODE 136
12/03/2019 | 01:56:50

Episode Notes

Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Kampala Catherine Kusasira Sserugga yakiguddeko e South Africa bweyabadde mu kivvulu kya Bannayuganda nagezaako okulumba Bobi Wine ne People Power - Uganda, Bannayuganda bamuweerekerezza ebigambo nebamutegeeza nga bwebakoowa.

 
 
BISANGAWANO EPISODE 135
BISANGAWANO EPISODE 135
12/02/2019 | 02:14:18

Episode Notes

Nga 4-Dec-2019, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wakulemberamu abantu abalala okutambula nga akabonero k'okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obukenuzi mu Ggwanga. Abaffe okutambula kuno kunayamba okugoba obuli bw'enguzi n'obukenuzi mu ggwanga?

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 134
BINSANGAWANO EPISODE 134
11/28/2019 | 02:05:57

Episode Notes

Poliisi e Bugiri ekutte abantu 4 ku bigambibwa nti babbye ekitanda ekikozesebwa mu kulongoosa abantu okuva mu ddwaliro lya Disitulikit. Nursing Officer Joyce Mutiibwa nga musawo ku ddwaliro e Bugiri yeyawaaba omusango CRB 709/19 ku CPS e Bugiri nga ekitanda kino kyabbibwa nga 20-Nov-2019 abantu abatategeerekeka.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 133
BINSANGAWANO EPISODE 133
11/26/2019 | 01:53:15

Episode Notes

Omugagga w'omu Kampala Godfrey Kirumira eggandaalo lya wiikendi teryamugendedde bulungi oluvannyuma lw'ebigambibwa nti yakubiddwa mizibu bannamaggye abamulagidde n'okwambulamu engatto nga entabwe eva ku nsonga z'ettaka. Kigambibwa nti abasirikale abamukubye baduumirwa Gen. Angina. Kigambibwa nti Kirumira alina enkayaana ku ttaka eririnaanye woteeri ye eya International Hotel Muyenga eryabadde lisendebwa okuteekawo ekubo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 132
BINSANGAWANO EPISODE 132
11/22/2019 | 02:19:48

Episode Notes

Poliisi ewaliriziddwa okukozesa omukka ogubalagala okusobola okugumbulula abawagizi b'ekisinde kya People Power - Uganda eky'omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ababadde mu kuziika abadde Ssentebe wa Uganda Human Rights Commission - UHRC, Omugenzi Hajji Muhammad Kaggwa alias Med Kaggwa e ku kyalo Lufuka mu Disitulikiti y'e Mpigi. Akavuyo katandikidde mu bawagizi ba Bobi Wine okutandika okumugoberera oluvannyuma lw'okuziika. Bano ababadde bayimba ennyimba za People Power Our Power bagenze bamugoberera okutuuka ku motoka ye ebadde mu mita nga 500. Poliisi egezezaako okuyimiriza abantu ababadde bamugoberera wabula nga bongera kuwera.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 131
BINSANGAWANO EPISODE 131
11/21/2019 | 01:54:37

Episode Notes

Emirimu gisanyaladde wamu n'ebyentambula okusanyalala ku luguudo oluva ku nkulungo y'e Mulago e wandegeya ne luyita mu Katanga okwolekera Mulago ku bbiri oluvanyuma lwa Poliisi ettegulula bbomu okuziba oluguudo luno. Bino byonna bivudde ku 'cylinder za gas' ezikozesebwa mu kwokya ebyuuma okwepika ne kitandika okutokota nga kino kiviriddeko nannyini kyo okuyita Poliisi eno olwokutya nti kyanditulika ne kituusa obulabe ku bantu.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 130
BINSANGAWANO EPISODE 130
11/20/2019 | 02:02:49

Episode Notes

Ssentebe w'akakiiko akatakabanira eddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission - UHRC Meddi Kaggwa afudde. Kigambibwa nti afunye obuzibu n'omutima enkya yaleero bw'abadde agenda ku mulimu nafa. Kigambibwa afiiridde kumpi n'enkulungo y'e Mulago, era nga baasizza endabirwamu okugezaako okumutaasa.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 129
BINSANGAWANO EPISODE 129
11/20/2019 | 02:09:22

Episode Notes

Marie Stopes Uganda, ekitongole eky'obwannakyewa nga kikwasaganya ensonga z'enteekateeka y'zadde kiragiddwa okujjayo obupiira bukalimpitawa obw'ekika kya 'Life Guard' ku katale mu bunnambiro nga kino kivudde ku kwemulugunya okukoleddwa Bannayuganda. Marie Stopes bebalina olukusa okusaasaanya obupiira buno mu Yuganda. Ebbaluwa efulumiziddwa aba Uganda National Drug Authority (NDA), eragidde Marie Stopes okufuna obupiira bwonna obwafulumizibwa ku 'batch 19040205 ne 19050105' ezakolebwa wakati wa April ne May 2019 nga ziggwako my March ne April 2024 kuba tezituukana namutindo gwa katale. Muky. Victoria Nambasa, nga yakola nga Product Safety Officer mu NDA agamba nti obupiira buno kigambibwa nti bwabika obulala bulimu ebituli.

 
 
BISANGAWANO EPISODE 128
BISANGAWANO EPISODE 128
11/18/2019 | 01:46:51

Episode Notes

Uganda Cranes 🇺🇬 ekubye Malawi🇲🇼 ggoolo 2 ku 0 nga ggoolo za Uganda ziteebeddwa Emmanuel Okwi 29' ne Fahad Bayo 66'. #TotalAFCON2021Q #UGAMWI

KasukaaliKeeko

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 127
BINSANGAWANO EPISODE 127
11/14/2019 | 02:09:28

Episode Notes

Omubaka wa Kyaddondo East era Munnakisinde kya People Power - Uganda Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine yateereddwa ku lukalala lw'abantu ekikumi ' TIME 100 ' nga ali mu kibinja kya ba "Phenoms" (People who achieve a lot very quickly) ekibeeramu abantu abafuna ettutumu mu bwangu ennyo. Mu kibinja kino mulimu n'omuzannyi wa Firimu Munnakenya Wanuri ne 'Model' Munnansi wa South Sudan Adut Akech. Yoga yoga Bobi Wine.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 126
BINSANGAWANO EPISODE 126
11/13/2019 | 02:05:14

Episode Notes

Omwogezi wa Uganda Police Force Enanga Fred avuddeyo nategeeza nti SSP Agero wamu n'abasirikale abalala beyali adduumira olw'ebyo byonna byebakola ku Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd Col. Dr. Kizza Besigye bebaali bamukwata byali mu mateeka era byalagibwa bulungi mubirina okukolebwa nga bakola ebikwekweto byabwe naddala nga waliwo abantu ab'eggume abalina okukwatibwa.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 125
BINSANGAWANO EPISODE 125
11/12/2019 | 02:31:56

Episode Notes

Omubaka wa Kyaddondo East era Munnakisinde kya People Power - Uganda Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bamwaniriza mu Canada mu mizira.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 124
BINSANGAWANO EPISODE 124
11/11/2019 | 02:39:42

Episode Notes

Omuwi w’amagezi ku nsonga za Kampala owa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Catherine Kusasira Sserugga avuddeyo nategeezezza nti Ssentebe wa National Resistance Movement - NRM mu Kampala Salim Uhuru bwaba ayagala okumusisinkana alina okusooka okumuwandiikira ngalaga nsonga ki emwetaaza nalwakiamwetaaga kubanga kati yemukamawe kuba ali waggulu we. Catherine Kusasira agamba nti ekifo kyalimu kiri ku ddaala kumpi lya Minisita , nga Uhuru kino alina okukimanya.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 123
BINSANGAWANO EPISODE 123
11/08/2019 | 02:06:04

Episode Notes

Omukubiriza w'Olukiiko olukulu olw'eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga yasindise omubaka era Munnakisinde kya People Power - Uganda owa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi mu Kakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa ku bigambibwa nti yasiiwuse empisa nayambalira Ssenkulu wa Ssetendekero wa Makerere Prof. Barnabas Nawangwe.

Obuzibu bwatandise lunaku lwakusatu Prof. Barnabas Nawangwe bweyabadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akavunaaynizibwa ku by'enjigiriza n'abakungu abalala bannyonyole ekyaviirako abayizi okwekalakaasa nebigambibwa nti abayizi batulugunyizibwa, Omubaka Zaake weyamusabidde annyonyole ku bigambibwa nti bakubira bazadde b'abaana abawakanya amateeka ga University amasimu nga ababatiisatiisa.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 122
BINSANGAWANO EPISODE 122
11/07/2019 | 02:07:11

Episode Notes

Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni era nga ye muduumizi owokuntikko ow'eggya lya Uganda Peoples' Defence Forces olunaku lw'eggulo yayogeddeko eri abagoba b'ennyonyi abatendekeddwa ku ssomero ly'ebyennyonyi erya Gulu Airforce Wing. Ba Pilot Cadets 18 wamu ne ba Craft Engineers 172 be batikiddwa olunaku lw'eggulo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 121
BINSANGAWANO EPISODE 121
11/06/2019 | 02:04:55

Episode Notes

Abakungu okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'ebintu mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards kyababuuseeko olunaku lw'eggulo okusanga nga seal zebatadde ku kifo awakolerwa emigaato ku Capital Shoppers Supermarket e Ntinda obaziyiza okuddamu okukola emigaati nga tebalina lukusa ate zamenyeddwa nga n'okukola emigaati kwazeemu dda. Barkery yagaddwa n'abakulira ekifo kino nebalagirwa okweyanjula mu bwangu eri ekitongole babitebye.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 120
BINSANGAWANO EPISODE 120
11/05/2019 | 02:21:23

Episode Notes

Poliisi efuuyidde Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye amazzi okusobola okugumbulula Bannakibiina naye ababadde bagugubidde nga baagala kwolekera ekisaawe ky'e Namboole.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 119
BINSANGAWANO EPISODE 119
11/04/2019 | 02:21:51

Episode Notes

Omuyimbi Big Eye StarBoss avuddeyo ku bantu abamuvuma olw'okuba awagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 118
BINSANGAWANO EPISODE 118
11/01/2019 | 02:08:39

Episode Notes

Jennifer Fullfigure kati asambira nnyuma nga jjanzi oluvannyuma lw'okusisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 116
BINSANGAWANO EPISODE 116
10/31/2019 | 01:44:30

Episode Notes

Eddy Kenzo avuddeyo ku bababdde bamwogerera ku lw'okusisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; "Ndabye bingi ebyogerwa ku 'Social Media' n'emikutu emirala nga boogera ku kuykyala kwange ewa Pulezidenti mu 'State House' nenzijukira akatambi keafulumya wano omwaka gumu oguyise. Bwoba oyagala okumanya wa wenyimiridde ddayo olabe akatambi ako owulirize bulungi.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 115
BINSANGAWANO EPISODE 115
10/29/2019 | 02:14:07

Episode Notes

Omulamuzi wa Kkooti enkulu Entebe Jane Abodo olunaku olwaleero asalidde Godfrey Wamala aka Troy omusango ggwa 'Manslaughter' so si gwakutta Moses Ssekibogo aka Mowzey Radio. Omulamuzi Jane bwabadde awa ensala ye agambye nti Troy mu ntandikwa y'okulumba Troy teyamulinako busungu bwakumutta wadde nga Mowzey Radio yafa oluvannyuma lw'okulwanira mu bbaala.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 114
BINSANGAWANO EPISODE 114
10/28/2019 | 02:28:41

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nalangirira abayimbi okuli Catherine Kusasira Sserugga wamu ne Mark Bugembe aka Bucha Man ku bifo eby'enjawulo mu Kampala. Catherine Kusasira yamuwadde eky'obuwabuzi ku nsonga za Kampala ate Buchman namukwasa ensonga za Ghetto mu lukungaana lweyakubye wali e Katwe. Wabula oluvannyuma wabaddewo vvaawo mpitewo nga abawagizi ba National Resistance Movement - NRM baagala okweggwa mu malaka olw'ensimbi ezabadde zigabwa.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 113
BINSANGAWANO EPISODE 113
10/24/2019 | 02:04:38

Episode Notes

Abayizi okuva ku Ssetendekero wa Makerere abawerako bakwatiddwa Poliisi ng'eyambibwako Millitary. Abakwatiddwa kuliko ne Guild President era Munnakisinde kya People Power Our Power Julius Kateregga. Bano bakyekalakaasa olw'abakulira ettendekero lino okwongeza ebisale.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 111
BINSANGAWANO EPISODE 111
10/23/2019 | 02:03:44

Episode Notes

Kitalo! Omutegesi w'ebivvulu Ssewankabo Dickson aka Dick Promotions afudde. Ono yaddusibwa mu ddwaliro lya Novik oluvannyuma lw'okukubwa puleesa bweyali mu kivvulu kya Stabua Natooro ekyali ku Obligato. Ono oluvannyuma yaddusiddwa mu ddwaliro ly'e Kiruddu gyabadde mu 'Intensive Care'.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 110
BINSANGAWANO EPISODE 110
10/17/2019 | 02:19:56

Episode Notes

Kkamera za Poliisi zakutte omusajja eyakubye owa Boda Boda ennyondo namubbaku Piki piki n'oluvannyuma nabulawo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 108
BINSANGAWANO EPISODE 108
10/16/2019 | 02:08:33

Episode Notes

Eddy Kenzo; "Mwe abagamba mbu nfa Rema Ready this what's app conversation carefully. Its not about her Tabirinamu naye mwe bukyanga nga bibawo mwali mulabye omukolo omwogezi nayingizamu ex womugole? Eno mission!! Nze nemukwono gwange twatula 4 meetings in our bed room discussing in our last meeting netusalawo tukite mumirembe and she will always be my family so kati mwe abamuyingiza mubino tabirimu. Naye Muzaata akoma kunze obusiramu buswadde ekimala. Alhuakbar 🙏"

 
 
BISANGAWANO EPISODE 107
BISANGAWANO EPISODE 107
10/11/2019 | 02:10:17

Episode Notes

Eddy Kenzo bwatyo mutaka e Colombia gyagenze okukuba abaayo omuziki. kigambibwa nti bwava eyo yandikola oluyimba ne Daddy Yankee.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 107
BINSANGAWANO EPISODE 107
10/10/2019 | 02:12:42

Episode Notes

Poliisi ne Military basudde emisanvu ekiro ekikeesezza olwaleero mu maka g'Omuyimbi Bobi Wine e Magere wamu ne One Lobe Beach e Busaabala gy'abadde ategeka ekivvulu kye ekya

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 106
BINSANGAWANO EPISODE 106
10/07/2019 | 02:17:37

Episode Notes

Omusumba w'abalokole Aloysius Bujjingo yavuddeyo mu butongole nasaba munne Suzan Makula Nantaba akirize amufumbirwe mu butongole mu maaso g'abazadde be.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 105
BINSANGAWANO EPISODE 105
10/04/2019 | 02:03:01

Episode Notes

Poliisi mu Kampala enkya yaleero ekedde ku kwata bavubuka b'ekisinde kya People Power - Uganda eky'omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bano nga babadde bambadde obukofiira obumyuufu mu lukungaana lwa Bannamawulire.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 104
BINSANGAWANO EPISODE 104
10/03/2019 | 01:55:54

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalagira Minisita w'Ebyobulamu Hon. Jane Ruth Aceng okuwera obuduuka b'wddagala bwonna omusangibwa mu malwaliro ga Gavumenti. Pulezidenti Museveni agamba nti okuvaayo n'ekiragiro kino bamaze kumutegeeza nti abasawo mu malwaliro ga Gavumenti ate bebanannyini bwo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 103
BINSANGAWANO EPISODE 103
10/02/2019 | 01:55:48

Episode Notes

Omubaka wa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi akwatiddwa ne Bannakisinde kya People Power - Uganda abalala 11 okubadde; Saasi Marvin ne Bwambale Godfrey mu Disitulikiti y'e Kasese gyabadde agenze okubunyisa enjiri ya People Power Our Power. Bano bagiddwa mu Bamboocha Gardens Resort mu Central Division mu Kasese municipality. Wabula oluvannyuma ateereddwa Poliisi nga taguddwako musango gwonna era nebamuwerekera okumufulumya Kasese.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 102
BINSANGAWANO EPISODE 102
10/01/2019 | 01:53:24

Episode Notes

Omuyimbi wa The Golden Production / Band Maureen Nantume ne Munnakatemba Mc Mariach batikiddwa okuva mu Amerika nebazibwa okwaboobwe. Bano bombi bawereddwa okumala emyaka 10 nga tebazeemu kudda mu Amerika oluvannyuma lw'okusaba Visa okugenda mu Amerika nga yabulambuzi wabula nebasangibwa nga bakuba bivvulu. Kigambibwa mbu babadde bagezaako kwewala kusasula misolo. Bano babadde batwalibwa abategesi b'ebivvulu okuli Juliet Zawedde ne Muvawala. Abategesi b'ebivvulu basazeewo bano okubasikiza Desire Luzinda ne Eddy Kenzo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 101
BINSANGAWANO EPISODE 101
09/30/2019 | 02:07:25

Episode Notes

Gavumenti ya Uganda evuddeyo nebyambalo ebitongole eby'eggye lya Uganda Peoples' Defence Forces - UPDF. Okusinziita ku biwandiikiddwa mu Uganda Gazette, biraga enkofiira z'ebitongole by'eggye ebyenjawulo okuli; 'Army Green', 'Maroon', 'Red', 'Dark brown', 'Grey' ne 'Navy Blue'. Omuntu yenna anasangibwa nga ayambadde enkoffiira ez'ekikula ekyo mu langi ku zimu kwezo ezimenyeddwa ajakuba azizza omusango ogwannagomola. Kino kitegeeza enkofiira y'ekisinde kya People Power - Uganda eky'Omubaka wa Kyaddondo Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bwojambala guba musango.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 100
BINSANGAWANO EPISODE 100
09/27/2019 | 02:00:05

Episode Notes

Businge Harriet 33301 Nyakato Asinansi 28789 Bwatyo Businge Harriet owa National Resistance Movement - NRM ye mubaka Omukyala akkikirira disitulikiti ye Hoima.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 100
BINSANGAWANO EPISODE 100
09/27/2019 | 02:00:05

Episode Notes

Businge Harriet 33301 Nyakato Asinansi 28789 Bwatyo Businge Harriet owa National Resistance Movement - NRM ye mubaka Omukyala akkikirira disitulikiti ye Hoima.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 99
BINSANGAWANO EPISODE 99
09/24/2019 | 02:29:35

Episode Notes

Omuyimbi Big Eye StarBoss naye avuddeyo nalumba muyimbi munne Ronald Mayinja olw'okuyimba oluyimba Bizeemu mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku Serena mu kivvulu kya Catherine Kusasira Sserugga; "Kitange RONALD MAYINJA nkusaamu ekitiibwa, wabula temuddayo kubuzaabuza bantu. Mwe mumaze okwekolako muteredde kati mulaba naffe ba musaayi muto akaseera katuusetwekoleko tutereere ate mutandise okutubuzaabuza nga mututiisatiisa nti #Bizeemu. Kale bwebiba bizeemu nebyasooka yabiggyawo, nabino ajja kulwana era addemu nabyo abimalewo. "Sso bambi mutuleeko wansi"

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 98
BINSANGAWANO EPISODE 98
09/23/2019 | 03:54:12

Episode Notes

Bebe Cool avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Facebook nalumba muyimbi munne Ronald Mayinja olw'okuyimba oluyimba bizeemu mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku kivvulu kya Catherine Kusasira Sserugga; "Ronald Mayinja ow'egyekinaana ne Ronald Mayinja owaleero. Leero tugenda kwogera ku kusiima n'okukola ennyo. Nze nga nze nebaza Ronald Mayinja olw'okukola ennyo okubeera obulungi leero era musabira akisomesa n'abavabuka abalala ng'abalaga bweyakikola okukyuusa embeera ye eya 1980 okudda mu bulamu leero bweyeyagaliramu. Kirungi okujjukira gyewava okusobola okusiima woli leero. Singa ddala bizeemu, Mayinja wadifaananye otya!?"

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 98
BINSANGAWANO EPISODE 98
09/23/2019 | 03:54:12

Episode Notes

Bebe Cool avuddeyo ku mukutu gwe ogwa Facebook nalumba muyimbi munne Ronald Mayinja olw'okuyimba oluyimba bizeemu mu maaso ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku kivvulu kya Catherine Kusasira Sserugga; "Ronald Mayinja ow'egyekinaana ne Ronald Mayinja owaleero. Leero tugenda kwogera ku kusiima n'okukola ennyo. Nze nga nze nebaza Ronald Mayinja olw'okukola ennyo okubeera obulungi leero era musabira akisomesa n'abavabuka abalala ng'abalaga bweyakikola okukyuusa embeera ye eya 1980 okudda mu bulamu leero bweyeyagaliramu. Kirungi okujjukira gyewava okusobola okusiima woli leero. Singa ddala bizeemu, Mayinja wadifaananye otya!?"

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 98
BINSANGAWANO EPISODE 98
09/19/2019 | 03:55:46

Episode Notes

Sulaiman Kabangala Mbuga aka Sk mbuga kyaddaaki ateereddwa okuva mu kkomera e Sweden. SK Mbuga ateereddwa oluvannyuma lw'oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi obuluma Mbuga nga bulaga nti ddala yafera kkampuni ya Sweden ssente. Mbuga yalabiseeko mu kkooti ku lw'okutaano nga omulamuzi yabadde alina okuwa ensala ye nga 27 September wabula oluvannyuma lw'okwekebejja empoza Omuwaabi yagugyemu enta era SK nateebwa nga kati alya butaala.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 97
BINSANGAWANO EPISODE 97
09/17/2019 | 01:05:46

Episode Notes

Isaac Katoogo nga mutuuze mu Disitulikiti y'e Mbale nga era ananyiddwa nga Ambassador was Yesu nga muyimbi was Kadongo kamu naye yafumitiddwa omusumaali gwa inchi 3 mu kamwa. Katoogo agamba nti yalumbiddwa abantu batategedde nebamukuba nga bamulanga okutambula n'omuzindaalo nga akuba oluyimba lweyayimba nga luwaana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni munnakibiina kya National Resistance Movement - NRM. Bino byonna byaguddewo Ku kyalo Nkoma e Mbale.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 95
BINSANGAWANO EPISODE 95
09/16/2019 | 01:45:26

Episode Notes

Ab'oludda oluvuganya Gavumenti okuli Bannakisinde kya People Power - Uganda okwabadde; Bobi Wine, MP Zaake Francis Butebi, Hon. Muwanga Kivumbi n'abalala, Gen. Mugisha Muntu owa ANT, aba Forum for Democratic Change okwabadde Rtd. Col. Kizza Besigye n'abalala beyiiye e Hoima okunoonyeza Munnakibiina kya FDC Asinansi Nyakato eyesimbyeewo ku kifo ky'omubaka omukyala owa Hoima.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 94
BINSANGAWANO EPISODE 94
09/13/2019 | 01:55:34

Episode Notes

Omuyima wa Boda Boda 2010 Hajji Abdullah Kitatta alabiseeko mu maaso ga Kkooti y'amaggye e Makindye nga awakanya ekibonerezo eky'emyaka 8 ekyamuweebwa olw'okusangibwa n'emmundu nga tazirina mu mateeka. Kitatta wamu neyali omukuumi we Detective Constable Ngobi Sowali bataddewo ensonga 8 kwebasabira omulamuzi Elly Turyamubona nga yatuula ku Kkooti eno yekka mu kakiiko akajulirirwamu okukendeeza ku kibonerezo ekyabaweebwa kyebagamba nti kinene nnyo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 93
BINSANGAWANO EPISODE 93
09/12/2019 | 02:01:09

Episode Notes

Abantu 4 ku bantu 8 abavunaanibwa ogw'okutta eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi ababadde bateereddwa ku kakalu ka Kkooti okuva mu International Crimes Division eya Kkooti enkulu. Bazeemu nebakwatibwa abebyokwerinda wamu ne Munnamateeka waabwe James Mubiru. Abebyokwerinda baasizza emotoka ya Mubiru mwebabadde besibidde okusobola okubaggyamu nebatwalibwa mu kifo ekitanategeerekeka.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 93
BINSANGAWANO EPISODE 93
09/10/2019 | 02:02:06

Episode Notes

Kitalo! Epharaim Kizito 60, omutuuze w'e Nabutiti - Kabalagala agudde nafiira mu kkooti y'omulamuzi w'eddaala ery'okubiri e Makindye. Ono abadde awerekedde Mukyala we Rosemary Kizito gweyeyimirira mu kkooti gyabadde agenze okusomerwa omusango gw'okulumya omuntu ogumuvunaanibwa nga singa guba gumusinze asibwa emyaka 5. Okusinziira kubabaddewo bagamba nti Kizito yagudde okuva ku ntebe kweyabadde atudde Mukyala we bweyateereddwa mu kaguli omulamuzi John Robert Okipi natandika okumusomera omusango. Omulambo gwa Kizito gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejebwa okuzuula emkimuse. Omusango gwongezeddwayo okutuuka nga 23-Sept-2019.

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 91
BINSAGAWANO EPISODE 91
09/09/2019 | 01:58:35

Episode Notes

Abavubuka abawerako abagamba nti bawagizi b'ekibiina kya National Resistance Movement - NRM balumbye ekitebe kya America e Nsambya nga balaga obutali bumativu bwabwe nga bagamba nti eggwanga lya America lyerireese obutabanguko ku lukalu lw'Omuddugavu.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 90
BINSANGAWANO EPISODE 90
09/05/2019 | 02:01:51

Episode Notes

Bannansi ba Nigeria mu kibuga Lagos bavudde mu mbeera nebalumba emotoka y'Omubaka wa South Africa mu Nigeria nebatandika okugikuba nga bamulanga Bannansi ba South Africa okutandika okukaba abatali ba South Africa nga baagala babaviira mu nsi yaabwe.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 89
BINSANGAWANO EPISODE 89
09/04/2019 | 02:06:54

Episode Notes

Bitabuusseeeeeeeeee Omuyimbi Dj Micheal nga muwagizi wa kibiina kya National Resistance Movement - NRM avuddeyo nalajanira PulezidentiYoweri Kaguta Museveni ne Bannakibiina kya NRM abalala okuvaayo bamudduukirire kuba embeera gyalimu okuva ekivvulu lwekyamusala kati yekweka.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 88
BINSANGAWANO EPISODE 88
09/02/2019 | 02:09:31

Episode Notes

Omuyimbi REMA Namakula yandiba nga asuddewo Taata w'omwana we Eddy Kenzo nga era ali munteekateeka yakwanjula omusajja omuggya Dr. Hamza Ssebunya, nga musawo (Gynecologist) mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 87
BINSANGAWANO EPISODE 87
08/29/2019 | 02:09:47

Episode Notes

Poliisi mu bitundu bye Kasese - Rubirizi etadde emisanvu mu makubo nga enoonya Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rt. Col. Dr. Kizza Besigye eyabatoloseeko nayingira Bundibugyo gyasuubirwa okutongoleza People’s Government Regional Assembly ey'e Rwenzori. Poliisi ekebera buli motoka okunoonyamu Besigye. Ye Patrick Amuriat ne Ingrid Turinawe ababadde bava e Fortportal nga boolekera Rubirizi nabo bagaaniddwa okuyita ku Road Block.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 86
BINSANGAWANO EPISODE 86
08/28/2019 | 01:55:19

Episode Notes

Ssaabaminisita wa Yuganda RT Hon. Dr. Ruhakana Rugunda yakiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku mukolo gw'okutongoza olubuuka lw'ennyonyi y'eggwanga eya Uganda Airlines nga omukolo ku kisaawe ky'ennyonyi Entebe. Ono awerekeddwako Minisita w'ebyenguudo n'entambula mu Ggwanga Monica Azuba Ntege wamu n'omubeezi wa Minisita ow'ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda. Ennyonyi eno esuubirwa okukola olubuuka lwayo olusooka nga agenda mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

UgandaAirlines

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 85
BINSANGAWANO EPISODE 85
08/28/2019 | 01:59:37

Episode Notes

Ddereeva wa motoka ekika kya Toyota Noah atomedde mugoba munne ku nkulungo ya Ntebe Road amakya galeero yakiguddeko omusirikale wa Traffic Atiaku bweyamuyimirizza nagaana omusirikale kwebuukira emotoka eno natuula ku bonnet ekyawalirizza ddereeva okuyimirira

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 84
BINSANGAWANO EPISODE 84
08/26/2019 | 02:04:17

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw'eggulo yasisinkanye ne Mukulu munne owa South Sudan Pulezidenti Salva Kiir olunaku lw'eggulo mu maka g'obwapuoezidenti Entebe.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 83
BINSANGAWANO EPISODE 83
08/23/2019 | 01:58:01

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asisinkanye n'abakulembeze okuva mu Angola, DR Congo, Rwanda ne Congo Brazzavile e Lunda. Pulezidenti Museveni wamu ne Pulezidenti Kagame batadde omukono ku ndagaano okuzza obuggya enkolagana mu mbeera y'ebyobufuzi wamu n'obusuubuzi wakati w'ensi zombi. Image may contain: 2 people, people standing

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 82
BINSANGAWANO EPISODE 82
08/21/2019 | 02:05:38

Episode Notes

Ekitongole ekirwanyisa obuli bw'enguzi mu Ggwanga okuva mu maka g'omukulembeze w'eggwanga ekya State House Anti-Corruption Unit kikutte abakozi ba Middle East Consultants babiri, kkampuni etwala abakozi ebweru w'eggwanga lwakuggya ku bantu ssente mu lukujjukuju okuva ku bantu 27. Okusinziira ku kitongole kino, ekitongole kya Middle East Consultants kibanjibwa obukadde 51 nga zawebwayo abantu okubafunira emirimu emyaka 3 egiyise. Abakwatiddwa kuliko Benon Kunywana, General Manager ne Ayamba Owen field agent. Kigambibwa nti Kunywana yajja ku bantu 20 ssente eziwerera ddala obukadde 51 nga abasuubizza emirimu mu nsi ze Buwalabbu kyatatuukiriza. Lt. Col. Edith Nakalema yategeezezza nti Ayamba yakwatiddwa ku kisaawe ky'ennyonyi nga agezaako okukukusa abawala 27 okubatwala e Buwalabbu nga akozesa ebiwandiiko bya Gavumenti ebijingirire wabula natoloka.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 81
BINSANGAWANO EPISODE 81
08/20/2019 | 01:59:59

Episode Notes

Minisita Hon Anite Evelyn: "Bamafiya, ababbi abali mu Gavumenti basala olukwe okunzita. Batuula obufofofo mu Kampala era nga bapangisizza bantu okunondoola. Bagenze nefulumya olukalala lw'amasimu n'obubaka okumanya byenjogera nebenjogera nabo. Bweffa temutwala omulambo ggwange okugwekebejja."

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 80
BINSANGAWANO EPISODE 80
08/19/2019 | 02:03:57

Episode Notes

Abantu abassuka mu 20 bebateberezebwa okuba nga bafiiridde mu kabenje e Bunyaruguru mu Distulikiti y'e Rubirizi motoka y'amafuta bwetomedde takisi bbiri zonna nezikwata omuliro

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 79
BINSANGAWANO EPISODE 79
08/15/2019 | 02:02:13

Episode Notes

Bitabuse! Bebe Cool yavuddeyo olunaku lw'eggulu nalumba Munnakisinde kya People Power - Uganda Bobi Wine wamu n'abawagizi ba People Power Our Power nti yewuunya abantu abasomyeko okukiriza nti Bobi Wine asobola okufuuka Pulezidenti. Agamba nti kimulumu okulaba abantu abalabika okubeera nga bategeera okwewussa. Ku Jose Chameleone okwesimbawo ku bwa Mayor yagambye nti akyali muto nnyo ku myaka 33 okufuuka Lord Mayor nti era yetaaga ebisanja bisatu ebirala okwesimbawo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 78
BINSANGAWANO EPISODE 78
08/14/2019 | 02:13:33

Episode Notes

Judith yayanjula bba ku mukolo mawuuno abasumba Irene Manjeeri ne Imeld Namutebi kwe babasabira omukisa okutebenkera obulungi mu bufumbo bwabwe. Kyokka mu April w’omwaka guno, Judith yawaayo okusaba ewa Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga amukkirize agende mu luwummula oluweebwa abalwadde era olukusa luno lwamuweebwa omubaka ono n’agenda mu Amerika n’okutuusa kati gy’ali. Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno , yategeezezza nti ekituufu Babirye mulwadde. Bwe yabuuziddwa ekimuluma yagambye nti ensonga eno Sipiika agimanyi bulungi nga sinkola yaabwe okufulumya ebikwata ku bulamu bw’omubaka mu lujjudde. Bwe yabuuziddwa ekiseera Babirye kyasuubira okumala ebweru w’eggwanga n’ensi gy’alimu yagambye nti nazo nsonga za buntu zatasobola kumala gagamba bantu okuggyako ng’omubaka yennyini yeeyeeyogeredde.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 77
BINSANGAWANO EPISODE 77
08/13/2019 | 01:42:38

Episode Notes

Omusango oguvunaanibwa Munnakisinde kya People Power - Uganda era Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine gwongezeddwayo okutuuka nga 17 September 2019. Wano nga ayogerako eri Bannamawulire oluvannyuma lwa kkooti okwongezaayo omusango gwa OTT ogumuvunaanibwa.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 76
BINSANGAWANO EPISODE 76
08/12/2019 | 02:15:24

Episode Notes

Kitalo! Ebiwoobe, emiranga n'okwazirana bibutikidde Morogoro nga ab'enganda bakaabira abantu baabwe abasoba mu 70 abafiiridde mu muliro bwebabadde bagenze okusena amafuta agabadde gayiika okuva mu trailer egudde.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 75
BINSANGAWANO EPISODE 75
08/08/2019 | 02:03:27

Episode Notes

Bitabuuseeeee ebya Kanyumunyu tebinaggwa era wakudda mu kkooti mu 2020, Kadaga atabukidde abagabi b'obuyambi, lwaki mutumalira obudde nga mutusuubiza ensimbi nemutazituwa.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 74
BINSANGAWANO EPISODE 74
08/07/2019 | 02:03:37

Episode Notes

Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Alinda Micheal aka Ziggy Wine omuwagizi wa People Power - Uganda ekisinde ky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nti teyatulugunyizibwa wabula 21- July 2019 ku ssaawa 7:30pm yatomera omusomesa wa Nursery Atwolo Roy 24 eyali ava okusoma nga adda awaka mu Mulimira Zone. Ziggy Wine Piki Piki yamukuba nagwa mu mwala ne Piki Piki ye nemugoberera bweyali agezaako okusala ekubo okudda mu Kisalosalo. Bombi bagibwawo abazira kisa nebatwalibwa mu kalwaliro ka Hope Clinic nebaweebwa obujanjabi obusookerwako nebaweebwa obujanjabi omusawo Kule Simon Ahebwa 24.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 73
BINSANGAWANO EPISODE 73
08/06/2019 | 01:58:58

Episode Notes

Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Ingrid Turinawe avunaaniddwa emisango okuli; ‘Annoyance or Public Common nuisance ne Assault’ era omulamuzi nagaana okumweyimirira namusindika ku alimanda okutuuka nga 16 – August – 2019. Abalala abasatu okuli; Joel Kabali, Wanyera Simoni ne Fatuma Abalinabyo bo bavunaaniddwa gwa ‘Malicious damage’ ku kuuma akayitwa okwaza abantu akamanyiddwa nga Gerret Walk Through Detector Machine ako ku Kkooti ya Buganda Road. Nabano basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 16 – August.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 72
BINSANGAWANO EPISODE 72
08/05/2019 | 02:06:51

Episode Notes

Big Eye StarBoss yavuddeyo ku mukutu gwa Facebook nagamba nti; "Abawagizi ba People Power - Uganda munemesezza okukola e Yuganda nemwerabira nti nina obuvunaanyizibwa. Kangira mbeerako e Bungereza. Naye Nkiddamu sikirabamu buzibu bwonna okuwagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Akyuusizza embeera ya Yuganda ne Bannayuganda okuva lweyajja mu buyinza. Mujja kujjukira ebigambo byange."

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 71
BINSANGAWANO EPISODE 71
08/01/2019 | 02:23:27

Episode Notes

Bannayuganda babiri batiddwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa abalowoozebwa okubeera abayekera ba National Salvation Front (NAS) abakulemberwa Lt. Gen. Thomas Cirilo. Bano bagudde mu katego kabayekera nga bali mu motoka yaabwe eyakumiddwako omuliro nebasirikka ku kyalo Alero ku luguudo lw'e Kaya-Yei. Eyerabiddeko nagage agamba nti bano bawambiddwa abayekera ne babatwala kiromita nga 13 mu kifo ekimanyiddwa nga Lungamere gyebabatidde. Emirambo gyatwaliddwa mu Arua Regional Referral Hospital okwekebejebbwa era oluvannyuma nekizuulwa nga omu ye Paul Kalekeezi ate omulala nga ye Ben Lubega.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 70
BINSANGAWANO EPISODE 70
07/31/2019 | 01:39:08

Episode Notes

Pulezidenti wa Democratic Party Uganda - DP Norbert Mao yavuddeyo nategeeza nti Forum for Democratic Change gwemuziziko gw'enkyuukakyuuka mu by'obufuzi bwa Uganda.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 69
BINSANGAWANO EPISODE 69
07/30/2019 | 01:58:27

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yakyazizza ba GeneraI ba UPDF abagenda okuwummula emirimu gy'amaggye mu maka g'obwa Pulezidenti e Entebe ku kyeggulo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 68
BINSANGAWANO EPISODE 68
07/29/2019 | 01:34:40

Episode Notes

Bitabuuse! Attorney General William Byaruhanga avuddeyo n'amabago amapya 4 nga gagenderera okuleetawo enongosereza mu mateeka g'ebyokulonda agaliwo ensangi zino. Ensonga enkulu eziri mu mabago gano agaleetebwa kuliko: - Omuntu yenna eyesimbyewo ku lwannamunigina ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga tajjanga kwegatta oba okukola omukago n'ekibiina kyonna eky'ebyobufuzi ekyewandiisa. - Kkamera n'amasimu tebijja kukirizibwa nga mu kifo awalonderwa. - Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'okulonda mu ggwanga ekya Electoral Commission kyekijja okulondanga ebifo awalonderwa. - Ebibiina byonna eby'obufuzi tebijja kubeera nga namikago nabisinde byonna eby'ebyofuzi. - Okwesimbawo ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga ku bwannamunigina, olina okubeera nga wava mu kibiina ky'ebyobufuzi n'ozzaayo kkaadi y'ekibiina ng'ekitono ennyo wayiseewo omwaka mulamba era nga ekibiina kino kyewavaamu kirina okukakasa kino mu buwandiike.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 67
BINSANGAWANO EPISODE 67
07/24/2019 | 01:58:27

Episode Notes

Waliwo ennamba za Piki piki ezisangiddwa nga zisuuliddwa e Matugga mu Disitulikiti y'e Wakiso nga zirowoozebwa okuba nga zabbibwa. Bitabuuse,

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 66
BINSANGAWANO EPISODE 66
07/23/2019 | 02:07:02

Episode Notes

Poliisi mu Katonga yakutte abavubuka babiri abagambibwa okutta owa Boda Boda nebamubbako Piki piki, bano kuliko Bakitwale Robert 18, ne Mayambala Fred 16 nga kigambibwa nti batta Kassimu Ssekijoba nebamubbako Piki piki nnamba UEH 632H.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 65
BINSANGAWANO EPISODE 65
07/22/2019 | 02:03:22

Bakubye Munnamateeka amasasi agamutiddewo e Kisoro, Abavubuka abatalina mirimu mugende mwewandiise mu byokulonda, Bannayunga muve mutulo nze njagala bakozi - Pulezidenti Museveni, Bannayuganda bakwatiddwa e Dubai lwakubba bintu byabagenyi abasula mu woteeri, Poliisi mu bitundu by'e Mukono omuwandiisi wa NRM ng'ate Ssentebe wakyalo lwakusobya ku bazzukulu be.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 64
BINSANGAWANO EPISODE 64
07/19/2019 | 02:13:09

Episode Notes

Ebya Pastor Bujjingo bikyalanda, Fr. Lokodo agamba nti talina nangeri gyayinza kunnyonyola muntu ng'oyo. Agamba nti yandiba nga si namusumba.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 63
BINSANGAWANO EPISODE 63
07/16/2019 | 02:08:29

Episode Notes

Abavubuka bavuddeyo okulwanirira omusumba w'abalokole Aloysius Bujjingo nga babuuza abakyala abakedde okwekalakaasa gyebaali nga abakyala battibwa mu bitundu by'e Wakiso nga Nansana n'Entebe, wa gyebabadde nga ebikolobero eby'enjawulo bikolebwa ku bakazi wamu n'abasajja nga bikolebwa bakazi!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 62
BINSANGAWANO EPISODE 62
07/15/2019 | 02:10:56

Episode Notes

Kyaddaaki Omusumba Aloysious Bugingo apondoose neyetondera mukyala we Teddy Naluswa Bugingo gw’alinamu abaana, olw’ebyo byeyamwogerako ku lw'okusatu nti yalina ekikulukuto okumala emyaka kkumi miramba. Ppaasita Bugingo era yagamba nti yamuguminkiriza nnyo kwossa okwonoona obutitimbe n’obutitimbe bwa ssente mu kumujjamjabisa n’okumugulira ppamba. Yayongerako nti yayita mu bingi omwali n'okumala emyaka 10 nga akekinyi akalunga mu mindi.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 61
BINSANGAWANO EPISODE 61
07/11/2019 | 01:19:55

Episode Notes

Bino bitusangawano naffe netubibasanza eyo! Bino bitabuseeeeeeeeeee!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 60
BINSANGAWANO EPISODE 60
07/10/2019 | 02:05:05

Episode Notes

Binsangawano Kalaso! Ebintu bitabuse byetaaga binokolaasi kubitangaaza okubitegeera. Anti Binsangawano naffe netubibasanze eyo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 59
BINSANGAWANO EPISODE 59
07/09/2019 | 02:08:35

Episode Notes

Bitabuuseeeeee nga alipoota evuddeyo neraga nti Gavumenti terina kyekoze mu kutumbula eby'enjigiriza! Byampuna! Poliisi ekutte abadde yeyita Omusawo okumala emyaka ebiri ku Uganda Cancer Institute, Kitalo! UTL Gavumenti eginoonyeza musiga nsimbi. Wooooo!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 58
BINSANGAWANO EPISODE 58
07/05/2019 | 01:51:14

Episode Notes

Eno Binsangawano ekuleetera essanyu lya wiikendi kati bwosubwa eno nga ogenda kuwa ....... Bitabuuuuusseeeeee

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 57
BINSANGAWANO EPISODE 57
07/03/2019 | 02:10:28

Episode Notes

Muhammad Ssebuufu ne banne bajulidde ku kibonerezo ekyabaweereddwa, emyaka ana bagamba nti mingi nnyo ku musango gwebakola.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 56
BINSANGAWANO EPISODE 56
07/02/2019 | 02:02:58

Episode Notes

Bitaabuuuseeeeee! Muhammad Ssebuufu ne banne 7 basaliddwa emyaka 40 lwakutta n'emirala 20 lwakuwamba Donah katushabe ne bamutta lwabbanja lya bukadde 9.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 55
BINSANGAWANO EPISODE 55
07/01/2019 | 01:53:36

Episode Notes

Bitabuuuuuseeeee Abanyarwanda n'Abakongo beeyiye mu ggwanga lwakutema bibiri, Lt. Gen. Andrew Gutti ayongeddwa ekisanja, abantu bonna abesenze mu bintu by'Abayindi nga Amin abagobye muweereddwa enaku 30 zokka okubivaamu.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 54
BINSANGAWANO EPISODE 54
06/28/2019 | 02:19:17

Episode Notes

Dr. Jose Chameleone ne muganda we Pallaso bayaniriziddwa nga bazira mu lukungaana lwa Democratic Party Uganda - DP gyebegaseeko. Chameleone agamba agenda kwesimbawo ku bwa Lord Mayor wa Kampala ate ye Pallaso agamba agenda Kawempe South ng'omubaka.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 53
BINSANGAWANO EPISODE 53
06/27/2019 | 02:01:38

Episode Notes

Webwazibidde nga etteeka eppya ku bapangisa ne Land Lord, singa ogoba omupangisa ku buwaze omuliyirira emyezi esatu oba okusibwa omwaka mulamba. Teri kusasuza bapangisa mu Dollar.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 52
BINSANGAWANO EPISODE 52
06/26/2019 | 02:04:24

Episode Notes

Webwazibidde n'omuntu omulala eyakubwa amasasi mu bubbi obwali ku Cheap General Hardware e Nansana naye afudde. Abavunaanibwa mu mivuyo gya Bank of Uganda babawadde bail. kino kika

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 51
BINSANGAWANO EPISODE 51
06/25/2019 | 02:03:00

Episode Notes

Webwazibidde nga Ssebuufu owa Pine bamusingisizza omusango gw'obutemu. Hoo abaffe ye OC wa CPS yaddawa?!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 50
BINSANGAWANO EPISODE 50
06/24/2019 | 02:18:31

Episode Notes

Webwazibidde nga ebya Bank of Uganda bikyalanda.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 49
BINSANGAWANO EPISODE 49
06/21/2019 | 01:57:04

Episode Notes

Abakozi ba Bbanka enkulu babiri batwaliddwa mu kkooti bannyonyole ku bya ssente ezakubwa.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 48
BINSANGAWANO EPISODE 48
06/21/2019 | 02:01:54

Episode Notes

Ebya Bbanka of Uganda tebinaggwa! Webwazibidde

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 48
BINSANGAWANO EPISODE 48
06/20/2019 | 02:01:54

Episode Notes

Webwazibidde! ng'embeera ku musango gwa Bajjo ekyuuse, yakiriza omusango wabula Munnamateeka we nategeeza omulamuzi nti yandiba nga byaddamu tabitegedde. Balamu awakanyizza eky'okumugaana okweyimirira Bajjo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 47
BINSANGAWANO EPISODE 47
06/20/2019 | 02:16:23

Episode Notes

Omwogezi wa NRM Rogers Mulindwa agamba nti Ssente ezakubibwa zaali zakuyamba opposition, Enanga akiriza nti Poliisi enoonyereza ku ssente ezo ate ye Ofwono Opondo namala egobe mu kibye mbu ssi ssente wabula solar batteries na solar panels. Abaffe ani asiriwaza ani?! Webwazibidde!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 46
BINSANGAWANO EPISODE 46
06/19/2019 | 02:10:00

Episode Notes

Ebya Bbanka enkuli bitabuse, Poliisi ezizeeko amaka g'abakulu abamu.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 45
BINSANGAWANO EPISODE 45
06/17/2019 | 02:15:09

Episode Notes

Webwazibidde munange nga Bajjo Eventz Clear Process bamukutte nga kijolya nebatwala.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 44
BINSANGAWANO EPISODE 44
06/15/2019 | 01:44:36

Episode Notes

Webwazibidde nga abakungu mu Bbanka enkulu eya Yuganda nabo bekubiddeyo obuwumbi 90 obwensimbi za Yuganda bagende bajooge! Naye Yuganda buli kimu kisoboka.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 43
BINSANGAWANO EPISODE 43
06/12/2019 | 02:16:32

Episode Notes

Nnyumirwa Binsangawano olyokke okirize nti kati osobola okutandika olunaku n'essanyu.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 42
BINSANGAWANO EPISODE 42
06/11/2019 | 02:06:30

Episode Notes

Webwazibidde nga eyali agoba bamugoba. Abalamesa Omulamuzi Bamugemereire okulambula ettaka babawadde emiddaali

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 41
BINSANGAWANO EPISODE 41
06/10/2019 | 02:18:31

Episode Notes

Prof. Kanyeihamba ataamidde omukuumi we namulagira aleke emmundu bwaba ayagala kufuluma. Poliisi esambazze nti abadde awambiddwa

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 40
BINSANGAWANO EPISODE 40
06/06/2019 | 02:19:35

Episode Notes

Bitaabuseeeeeee naye abasajja bebakira mukusoma Budget nosoberwa ate bwekituuka mu Nations Address kissukka.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 39
BINSANGAWANO EPISODE 39
06/05/2019 | 02:12:47

Episode Notes

Eno Binsangawano kalaso, Eng. Kitaka awakannyizza ebigambibwa nti bamuwumuzza kubwa Executive Director.

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 38
BINSAGAWANO EPISODE 38
06/04/2019 | 02:55:22

Episode Notes

Nnyumirwa Omulangira Ndausi, Kidomoole omutembeeyi w'ebigambo, Maliseeri eyava ku kizindaalo, bonna mu Binsangawano. Olyoke offe enseko!

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 37
BINSAGAWANO EPISODE 37
06/04/2019 | 02:40:00

Episode Notes

Nnyumirwa Binsangawano kuba y'ensibuko y'essanyu ory'okunkya.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 36
BINSANGAWANO EPISODE 36
05/28/2019 | 02:24:27

Episode Notes

Omulamuzi Catherine Bamugemereire mbu ali mukutya waliwo abamwegezezaamu okumumiza omusu! Byampuna. Webwazibidde!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 35
BINSANGAWANO EPISODE 35
05/27/2019 | 02:34:31

Episode Notes

Zino ezaleero nseko buseko, bwotaseka nga ggwe bwotyo bwoliba!

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 34
BINSAGAWANO EPISODE 34
05/22/2019 | 02:42:33

Episode Notes

Abaffe Ente za Kitatta ezaali ku ffaamu ani yazitwala?

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 33
BINSANGAWANO EPISODE 33
05/21/2019 | 02:45:35

Episode Notes

Zino ezaleero nseko buseko ataseke nga bwoliseka bwotyo eh! manya nga gwe bwotyo bwolibeera. Nnyimirwa

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 32
BINSANGAWANO EPISODE 32
05/21/2019 | 02:51:58

Episode Notes

Zino ezaleero nseko buseko, bwotaseka nga ggwe toliseka

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 31
BINSANGAWANO EPISODE 31
05/17/2019 | 02:36:43

Episode Notes

Eno Binsangawano bwotegendereza wandivuga noyita newolaga! Towuliriza Wekka yita n'omulala

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 30
BINSANGAWANO EPISODE 30
05/16/2019 | 02:31:27

Episode Notes

Webwazibidde nnyumirwa Binsangawano nseko buseko.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 29
BINSANGAWANO EPISODE 29
05/15/2019 | 02:43:07

Episode Notes

Eno ye Binsangawano, ek'ennyanja ekisinga okulya mukene okimanyi? Bakiyita Zikwempenejegeju, kati wuliriza Binsangawano nga Kidomoole akikunyonyola eneeyisa yaakyo.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 28
BINSANGAWANO EPISODE 28
05/14/2019 | 02:37:23

Episode Notes

Webwazibidde nga Kitatta alindirira kumusomera musango. Nga baali bamaanyi nga naffe tubatya.

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 27
BINSAGAWANO EPISODE 27
05/13/2019 | 02:54:25

Episode Notes

Ebya Kitatta Abdallah Bitabuse, gunaggwa guno lindirira!

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 25
BINSAGAWANO EPISODE 25
05/10/2019 | 03:15:37

Episode Notes

Tonnyumirwa wekka, Katikkiro eyagayalirira Kabaka we naffa omumenyi? Kati Nnyumirwa

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 24
BINSAGAWANO EPISODE 24
05/10/2019 | 02:54:28

Episode Notes

Nnyumirwa Binsagawano mu kisiibo kino owulira essanyu. Toseka wekka wabula yita n'abalala.

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 23
BINSAGAWANO EPISODE 23
05/08/2019 | 02:23:16

Episode Notes

Emmese ezisinga okusima ebinnya ebinene ozimanyi? Empuliyonzezenge ogimanyi? Webwazibidde?!

 
 
BINSAGAWANO EPISODE 22
BINSAGAWANO EPISODE 22
05/07/2019 | 02:24:12

Episode Notes

Tonnyumirwa wekka wabula tegeezaako n'abalala nti Pulogulaamu etakulekera busungu egguse bumale obusonzi bwekunya. Webwazibidde nga eyali akulemberwa kadenge omusirikale wa Traffic amukubye ekipapula manya eyali adduumira Poliisi nga kati bu.................

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 21
BINSANGAWANO EPISODE 21
05/06/2019 | 02:39:02

Episode Notes

Nnyumirwa the best Morning Drive show in Uganda Binsagawano!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 20
BINSANGAWANO EPISODE 20
05/02/2019 | 02:22:14

Episode Notes

Nnyumirwa Binsagawano nga tewali akutaataganya. Ziba nsonga ezoogerwako

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 19
BINSANGAWANO EPISODE 19
04/30/2019 | 02:13:09

Episode Notes

Webwazibidde nga Bobi Wine ali Luzira. Kati Nnyumirwa. Towuliriza Wekka, Don't Listen Alone

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 18
BINSANGAWANO EPISODE 18
04/29/2019 | 02:10:08

Episode Notes

Nnyumirwa amakya amalungi ne Pulogulaamu etekulekera busungu. Nnyumirwa essabo ly'emizannyo mbu Kidomoole oluvannyuma lw'okukuba Arsenal olubuto lumuluma.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 17
BINSANGAWANO EPISODE 17
04/26/2019 | 02:16:16

Episode Notes

Webwazibidde, Empaka za Miss Curvy ezakamalirizo zaleero, Naye lwaki temuleka ennyonyi za Yuganda!? Nnyumirwa Binsagawano

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 16
BINSANGAWANO EPISODE 16
04/25/2019 | 02:08:42

Episode Notes

Nnyumirwa Pulogulaamu etakujuza buli ku makya. Anti webwazibidde nga Bobi Wine akyakuumirwa waka. Mulowooza teyatolose ku Poliisi.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 15
BINSANGAWANO EPISODE 15
04/24/2019 | 02:26:00

Episode Notes

Webwazibidde nga Bobi Wine Poliisi emukuumira waka, Ennyonyi za Yuganda zitandika ddi okubuuka?

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 14
BINSANGAWANO EPISODE 14
04/23/2019 | 02:25:29

Episode Notes

Binsangawano, ennyonyi za Yuganda zituuse, enkusebutuluku ogimanyi? Kino kinnyonyi ekirya omucceere nekigumalawo. Nnyumirwa

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 13
BINSANGAWANO EPISODE 13
04/22/2019 | 02:53:55

Episode Notes

Nnyumirwa eggandaalo lya Easter u Binsagawano. Ebintu bitabuse, webwazibidde!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 12
BINSANGAWANO EPISODE 12
04/19/2019 | 02:26:49

Episode Notes

Nnyumirwa olunaku lw'okutambuza omusaalaba, Balam aleeta Bebe Cool e Nakawa mbu atwalaganye Kabaziguruka. Jjaja Maaya akubye tooki mu mbeera eri mu Ggwanga. Yongera okuyiga empigadada ogimanyi.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 11
BINSANGAWANO EPISODE 11
04/18/2019 | 02:23:17

Episode Notes

Binsagawano, ogwa Age limit gusalwa lwaleero

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 10
BINSANGAWANO EPISODE 10
04/17/2019 | 02:13:29

Episode Notes

Binsagawano egusse bumale, ebintu bitabuse, webwazibidde!?

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 9
BINSANGAWANO EPISODE 9
04/16/2019 | 02:11:45

Episode Notes

Nnyumirwa Binsagawano nseko buseko.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 8
BINSANGAWANO EPISODE 8
04/12/2019 | 02:19:22

Episode Notes

It's a Friday, tugenda mu weekend nnyumirwa!

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 7
BINSANGAWANO EPISODE 7
04/11/2019 | 02:22:11

Episode Notes

Bisangawano, webwazibidde nga Bashir bamutwala. Nnyumirwa

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 6
BINSANGAWANO EPISODE 6
04/10/2019 | 02:16:07

Episode Notes

Nnyumirwa Binsagawano etukulekera stress

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 5
BINSANGAWANO EPISODE 5
04/09/2019 | 02:19:29

Episode Notes

Nnyumirwa Program etakulekera stress

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 4
BINSANGAWANO EPISODE 4
04/08/2019 | 02:13:43

Episode Notes

Eno ye Binsagawano etakulekera stress, nnyumirwa anti bitabuse.

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 3
BINSANGAWANO EPISODE 3
04/05/2019 | 02:03:02

Episode Notes

Nnyumirwa Binsagawano

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 2
BINSANGAWANO EPISODE 2
04/04/2019 | 02:19:09

Episode Notes

Nnyumirwa essabo ly'ebyemizannyo, Bad Black alangidde Bebe Cool okubeera omusajja atawera, Kati funa ebinokolasi olabe ensonga nga bweziri mu Ggwanga lyattu

 
 
BINSANGAWANO EPISODE 1
BINSANGAWANO EPISODE 1
04/03/2019 | 01:56:19

Episode Notes

The Best Morning Drive Show.

 
 
About us Terms and Conditions