< Back

Gasimbagane ne Banamawulire

Gasimbagane ne Banamawulire

Radio Simba
 
Wuliriza Bannamawulire abakugu, abanoonyereza wamu n'ababaka bo nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezibaddewo mu ggwanga okumala wiiki nnamba. Tosubwa Ahmad Kateregga Musaazi, Charles Rwomushana, Namayanja, Siraje Lubwama, Hon. Muwanga Kivumbi, John Kakande, Harunah Kanaabi ne Peter Kibazo. Nnyumirwa
 
DDALA HE MUSEVENI YATAMBULA KUGOBA NGUZI OBA?
DDALA HE MUSEVENI YATAMBULA KUGOBA NGUZI OBA?
12/07/2019 | 01:36:21

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Yakulemberamu abantu abalala okutambula nga akabonero k'okulwanyisa obuli bw'enguzi n'obukenuzi mu Ggwanga. Abaffe okutambula kuno kunayamba okugoba obuli bw'enguzi n'obukenuzi mu ggwanga?

 
 
ABABBI B'ETTAKA BASIIMIBWA NAMIDDAALI
ABABBI B'ETTAKA BASIIMIBWA NAMIDDAALI
11/30/2019 | 01:49:41

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nategeeza nti; "Simanyi lwaki abantu basalawo kukozesa bumenyi bw'amateeka okusuula National Resistance Movement - NRM? Bano tebamanyi nti bazanya nango ku eby'okwerinda kye kitundu kyenkikirira."

 
 
EBY'OBULAMU MU GGWANGA GADIBE NGALYE - HON. MUWANGA KIVUMBI
EBY'OBULAMU MU GGWANGA GADIBE NGALYE - HON. MUWANGA KIVUMBI
11/23/2019 | 01:49:26

Episode Notes

Abadde Ssentebe wa Uganda Human Rights Commission Med Kaggwa yafiiridde mu motoka nga agenda ku mulimu. Ebyobulamu mu Ggwanga tubikubemu ttooki. Poliisi yakubye tear gas mu bawagizi ba Bobi Wine nga ava okuziika. Bino n'ebirala byoba olindirira. Image may contain: outdoor

 
 
SIPIIKA KADAGA YALAJANYE KU BABBA SSENTE Z'OLUTINDO
SIPIIKA KADAGA YALAJANYE KU BABBA SSENTE Z'OLUTINDO
11/16/2019 | 01:43:26

Episode Notes

Winnie Byanyima yalayiziddwa mu butongole nga UNAIDS Executive Director nga yalayiziddwa Secretary-General wa UN António Guterres ku mukolo ogwabadde ku United Nations mu kibuga New York.

 
 
AMAKOLERO AGALI E KIRA GASINGA AGALI E JINJA - KATEREGGA
AMAKOLERO AGALI E KIRA GASINGA AGALI E JINJA - KATEREGGA
11/09/2019 | 01:51:54

Episode Notes

Sipiika alagidde MP Zaake Francis Butebi atwalibwe mu kakiiko akakwasisa empisa annyonyole lwaki yayambalidde Prof. Nawangwe. Natte Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Kizza Besigye yazzeemu naloza ku bukambwe bwa Poliisi. Abaffe ago ge maanyi agasaanidde okukozesa. Minisita Kahinda Otafiire agamba nti agenda kutwala mu Kkooti abo bonna bagamba nti bamwogerako ebikikinike. Bino n'ebirala byoba olindirira. Nsonga ki esinze okukwata

 
 
NAYE MAZIMA PULEZIDENTI OKULONDA BUCHAMAN YASINZIDDE KU KI - RWOMUSHANA
NAYE MAZIMA PULEZIDENTI OKULONDA BUCHAMAN YASINZIDDE KU KI - RWOMUSHANA
11/02/2019 | 01:45:51

Episode Notes

Omwogezi w'eggye lya Uganda Peoples' Defence Forces - UPDF Brig. Richard Karemire avuddeyo nategeeza nti Capt Ronald Lubeera okuva mu Military Police yakwatiddwa era naggalirwa e Makindye. Kigambibwa nti ono yeyadduumira amaggye agaali e Makerere u Ssetendekero. Akakiiko akanoonyereza kateekeddwao nga kakulemberwa Lt. Col. Richard Ochen Okum okunoonyereza ku ki ekyaliwo balabe kiki ekiddako.

 
 
KYABUSWAVU NNYO AMAGGYE OKUKUBA ABAYIZI - PETER KIBAZO
KYABUSWAVU NNYO AMAGGYE OKUKUBA ABAYIZI - PETER KIBAZO
10/27/2019 | 01:46:42

Episode Notes

Poliisi wamu n'amaggye gaalumbye ebisulo by'abayizi e Makerere ekiro mu ttumbi nebatandika okumenya enzigi wamu n'okukuba omukka ogubalagala mu bisulo by'abayizi. Omwogezi wamaggye navaayo nategeeza nti babadde bakozesa 'Minimum force'

 
 
PULEZIDENTI YAYISIZZA MU IGP OKUTUMA DIGP OBA
PULEZIDENTI YAYISIZZA MU IGP OKUTUMA DIGP OBA
10/20/2019 | 01:52:19

Episode Notes

Ensonga za Rema, Eddy Kenzo wamu ne Muzaata zandiba nga zisusse aw'omulamuzi, Ensonga z'omugagga Mohan Kiwanuka wamu ne Bakyala be batandisa okukayanira eby'obugagga bye nga akyali mulamu. Pulezidenti Museveni yalagidde DIGP Ssabiti Mzee okuvaayo mu naku bbiri, abaffe yerabidde nti IGP Ochola wali? Pulezidenti Museveni yayogedde ku kugaana Bobi Wine okuyimba nategeeza nti tajja kuddamu kuyimba olw'okuba yagenda ebweru mu America nagaana abasigansimbi okujja mu Yuganda.

 
 
DDALA YUGANDA ESAANYE OKUJAGUZA AMEFUGA OBA
DDALA YUGANDA ESAANYE OKUJAGUZA AMEFUGA OBA
10/12/2019 | 01:49:41

Episode Notes

GasimbaganeNeBannamawulire me; Peter Kibazo, Charles Rwomushana, Aisha Kabanda, Hon. Muwanga Kivumbi n'abalala. Osobola okuddamu okuwliriza Gasimbagane mu budde bwo ku www.afkloud.com oba wefunire app ya Afkloud.

Ddala Yuganda esaanye okujjaguza amefuga oba? Omubaka Kyagulanyi Poliisi yagaana ekivvulu kye lwa byakwerinda oba? Obukuumi bwebateeka ewuwe ne ku bbiici bwali tebumala kivvulu kye? Abatuuze b'e Lusanja baddukira mu Kkooti ejjulirwamu kino kibataasa oba? Pulezidenti Museveni yakyaaza Munangagwa ku mikolo gy'amefuga aga 57 ..... Bino n'ebirala byoba olindirira.

 
 
GOVERNMENT OKUWERA ENKOFIIRA EMYUUFU ETIDDE BOBI WINE
GOVERNMENT OKUWERA ENKOFIIRA EMYUUFU ETIDDE BOBI WINE
10/05/2019 | 01:59:20

Episode Notes

GasimbaganeNeBannamawulire ne Peter Kibazo, Charles Rwomushana, Hon. Muwanga Kivumbi, Aisha Kabanda n'abalala.

Osobola okugiwuliriza okuva ku www.afkloud.com oba wefunire app ya Afkloud ogiwulirize mu budde bwo. Nsonga ki esinze okukwata omugamba wiiki eno; Amaggye gavuddeyo ne gawandiisa ebyambala era negawera okukozesa enkofiira emyuufu ez'ekisinde kya People Power Our Power eky'omubaka Kyagulanyi aka Bobi Wine.

 
 
ABAFFE NRM YABBYE OBA YAWANGUDDE AKALULU E HOIMA?
ABAFFE NRM YABBYE OBA YAWANGUDDE AKALULU E HOIMA?
09/28/2019 | 01:48:53

Episode Note

Ebyeyolekedde e Hoima bikuwa kifaananyi ki mu kalulu ka 2021? Emotoka ezaguliddwa Palamenti ku Common Wealth Parliamentary Conference zigenda kuweebwa obukiiko bwa Palamenti obw'enjawulo. Ahamed Kateregga Musaazi, Aisha Kabanda, Charles Rwomushana, Hon. Muwanga Kivumbi ne Peter Kibazo.

 
 
LWAKI ISO ETULUGUNYA ABANTU - HON. MUWANGA KIVUMBI
LWAKI ISO ETULUGUNYA ABANTU - HON. MUWANGA KIVUMBI
09/21/2019 | 01:49:10

Episode Notes

Omusajja agamba nti Munnakibiina kya National Resistance Movement - NRM eyagamba nti bamukuba omusumaali mu kamwa e Mbale abakulu mu kibiina bamwegaana. Omukubiriza w'Olukiiko olukulu olw'eggwanga Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga yavuddeyo nategeeza nti obulwadde obwamutuusa ku kitanda kyava ku Pressure gyeyafuna bweyali agezaako okununula ensimbi obuwmbi 24 ezabibwa mu kuzimba ebbibiro lya Isimba. Lindirira

 
 
AMERICA EWAMBYE EBYOBUGGAGGA BYA KAYIHURA
AMERICA EWAMBYE EBYOBUGGAGGA BYA KAYIHURA
09/14/2019 | 01:36:30

Episode Notes

Nsonga ki esinze okukwata omugamba wiiki eno? Abavunaanibwa ogw'okutta AIGP Felix Kaweesi bateereddwa kkooti nebaddamu nebakwatibwa ne Munnamateeka waabwe, Ababaka ku kakiiko k'eddembe ly'obuntu bagaaniddwa okulambula safe houses, eyaliko IGP Edward Kale Kayihura ebyobuggagga bye mu America biteereddwako envumbo, Bannansi ba Rwanda 31 ababadde bakwatibwa CMI baziddwa okwaboobwe bino n'ebirala byoba olindirira.

 
 
ABANTU 5 BATIDDWA NGA MINISITA YAKAGAMBA NTI EBYOKWERINDA BINYWEVU
ABANTU 5 BATIDDWA NGA MINISITA YAKAGAMBA NTI EBYOKWERINDA BINYWEVU
09/07/2019 | 01:44:35

Episode Notes

Minisita w'ebyokwerinda mu ggwanga yabadde yakavaayo nategeeza Palamenti nga eby'okwerinda mu Ggwanga bwebiri ebinywevu nti era Social Media yesasamaza abantu, abantu 5 nebatibwa nga abasembyeyo batiddwa ku luguudo lwa Entebe Express Highway. Akakiiko ka Palamenti akakwatibwako ensonga z'eddembe ly'abantu kakyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku kya 'Safe Houses' okubeera nga batulugunyizaayo abantu.

 
 
BASINZE KUTIJISA WA NRM GWEBAKUBYE EMISUMAALI NEBERABIRA GWEBASSE - HON. KIVUMBI
BASINZE KUTIJISA WA NRM GWEBAKUBYE EMISUMAALI NEBERABIRA GWEBASSE - HON. KIVUMBI
08/31/2019 | 01:49:09

Episode Notes

GasimbaganeNeBannamawulire; ne Peter Kibazo, Charles Rwomushana, Hon. Muwanga Kivumbi, Aisha Kabanda, Ahmed Kateregga n'abalala.

Nsonga ki esinze okukwata omugamba wiiki eno? Ettemu lizeemu, mwana muwala Mariam Nagiriinya Gateni yatiddwa ne Kitayimbwa Robert, omuwagizi wa National Resistance Movement - NRM agambibwa okukubwa eimusumaali mu bibatu, ekirwadde kya Ebola kizeemu e Kasese. Bino n'ebirala bingi by'oba olindirira.

 
 
ANITE BYAKAABA EBYA UTL BYAPPA - MUWANGA KIVUMBI
ANITE BYAKAABA EBYA UTL BYAPPA - MUWANGA KIVUMBI
08/24/2019 | 01:43:37

Episode Notes

Nsonga ki ekukutte omugamba wiiki eno. Entalo ku ttaka zikyagenda mu maaso mu ggwanga, ebya Minisita Anite Evelyn bikyalanda, ebya Gen. Elly Tumwine agamba nti akakiiko kekubidde era agenda mu kkooti nkulu okujulira bino n'ebirala byoba olindirira.

 
 
COSASE EGENDA KUNOONYEREZA KU TTAKA LY'ABAYINDI
COSASE EGENDA KUNOONYEREZA KU TTAKA LY'ABAYINDI
08/17/2019 | 01:49:06

Episode Notes

Embeera mu ddwaliro lya Kawempe National Referral hospital mu Neonatal Intensive Care Unit (NICU) gyebakuumira abaana eyungula ezziga. COSASE enoonyereza ku ngeri abantu gyebafunamu ebintu ebyali ebya Bayindi. Ebyettaka lye Lusanja bisitudde omulamuzi atuuke mu kifo. Lindirira

 
 
ENSONGA ZA UTL KKOOTI ERAGIDDE BAFUNE BA AUDITOR
ENSONGA ZA UTL KKOOTI ERAGIDDE BAFUNE BA AUDITOR
08/10/2019 | 01:49:48

Episode Notes

GasimbaganeNeBannamawulire ne Peter Kibazo, Ahmed Kateregga Musaazi, Hon. Muwanga Kivumbi, Charles Rwomushana ne Aisha Kabanda.

Nsonga ki esinze okukwata omugamba wiiki eno? Ababaka ne Minisita w'Ebyobulamu bagaanibwa Poliisi okuyingira awazimbibwa eddwaliro ly'e Lubowa mbu kubiragiro bya Permanent Secretary, ettemu likyagenda mu maaso mu ggwanga, ensonga za UTL zikudde ejjembe Kkooti eragidde ebitabo byekebejjebwe. Bino n'ebirala byoba olindirira.

 
 
LWAKI OSOMESA OKUGAGGAWALA SO NGA BASAJJABO ETTAKA BALIMALAWO
LWAKI OSOMESA OKUGAGGAWALA SO NGA BASAJJABO ETTAKA BALIMALAWO
08/03/2019 | 01:44:39

Episode Notes

Nsonga ki ekoze amawulire wiiki eno?! Attorney General agamba nti mwe abatategeera nsonga z'amateeka ne muzitaputa nga bwemwagala mulina obuzibu, enongosereza mu mateeka g'okulonda tezigenderera kulemesa Bobi Wine. Dr. Stella Nyanzi yasaliddwa omusango naweebwa ekibonerezo kya myezi 9. Sipiika Rebecca Kadaga yakirizza akakiiko ka COSASE okuddamu okunoonyereza ku mivuyo gya Bbanka enkulu wabula nga balina kukwata ku nsonga ezo zokka ezitakolebwako mu kisanja kya Abdu Katuntu. Bino n'ebirala by'oba olindirira.

 
 
BOBI WINE ALONZE OLUKIIKO LWA PEOPLE POWER
BOBI WINE ALONZE OLUKIIKO LWA PEOPLE POWER
07/27/2019 | 01:51:06

Episode Notes

Attorney General William Byaruhanga avuddeyo n'amabago amapya 4 nga gagenderera okuleetawo enongosereza mu mateeka g'ebyokulonda agaliwo ensangi zino. Ensonga enkulu eziri mu mabago gano agaleetebwa kuliko: - Omuntu yenna eyesimbyewo ku lwannamunigina ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga tajjanga kwegatta oba okukola omukago n'ekibiina kyonna eky'ebyobufuzi ekyewandiisa. - Kkamera n'amasimu tebijja kukirizibwa nga mu kifo awalonderwa. - Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'okulonda mu ggwanga ekya Electoral Commission kyekijja okulondanga ebifo awalonderwa. - Ebibiina byonna eby'obufuzi tebijja kubeera nga namikago nabisinde byonna eby'ebyofuzi. - Okwesimbawo ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga ku bwannamunigina, olina okubeera nga wava mu kibiina ky'ebyobufuzi n'ozzaayo kkaadi y'ekibiina ng'ekitono ennyo wayiseewo omwaka mulamba era nga ekibiina kino kyewavaamu kirina okukakasa kino mu buwandiike. Omubaka Kyagulanyi aka Bobi Wine yalonze akakiiko okwetoloola eggwanga lyonna kakole emirimi gya People Power - Uganda. The Peoples Government - PG yakoze olukungaana okuttaanya emirimu gyaayo mu maka ga Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye.

 
 
GASIMBAGANE OKUWANDIISA ENSOLO MU YUGANDA
GASIMBAGANE OKUWANDIISA ENSOLO MU YUGANDA
07/20/2019 | 01:22:31

Episode Notes

Gasimbagane ne Bannamawulire ne Peter Kibazo, Hon. Muwanga Kivumbi, Aisha Kabanda, Harunah Kanaabi ne Charles Rwomushana nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga y'okuwandiisa ebisolo byonna ebirundibwa mu Yuganda naddala ente, so nga ate wailiyo n'ebbago ku kuwandiisa abalimi b'emmwaanyi.

 
 
KABULETA AKWATIDDWA LWAKUVUMA PULEZIDENTI MUSEVENI
KABULETA AKWATIDDWA LWAKUVUMA PULEZIDENTI MUSEVENI
07/13/2019 | 01:45:28

Episode Notes

Joseph Kabuleta akwatiddwa lwakuvvoola nakulengezza Pulezidenti Museveni, Poliisi erabudde buli omu akozesa Facebook yegendereze ku byebapositinga. Omubaka Betty Nambooze agamba nti abaana bangi batwalibwa ebweru okukola wabula nebababonyaabonya nga abaddu, Minisita Janati Mukwaya ow'ekikula ky'abantu agamba tasobola kuwera kkampuni zitwala bantu bweru kukola. Bino n'ebirala mu Gasimbagane.

 
 
GASIMBAGANE PROF. KANYEIHAMBA AGAMBA NTI BAMUWAMBA
GASIMBAGANE PROF. KANYEIHAMBA AGAMBA NTI BAMUWAMBA
07/06/2019 | 01:52:36

Episode Notes

Bingi ebituuseewo mu wiiki gyetukubye amabega omubadde Omuyizi w'e Kyambogo Ronald Asiimwe ateberezebwa okuba nga yasse Brother Emmanuel Mugarula mubukambwe omulambo gwe nagusiba muttundubaali, ensonga ya ba LDU mu ggwanga ekutte akati. Bino n'ebirala mu Gasimbagane ne Bannamawulire ne Peter Kibazo.

 
 
ENSONGA ZA UGANDA TELECOM LIMITED
ENSONGA ZA UGANDA TELECOM LIMITED
06/29/2019 | 01:33:58

Episode Notes

GasimbaganeNeBannamawulire ne Peter Kibazo.

Nsonga ki esinze okukwata omugamba wiiki eno? - Minisita Evelyn Anite n'ensonga za Uganda Telecom bikutte wansi newaggulu, Mwesigwa Rukuntana agobye ekiragiro kya Minisita, Minisita amuddizza omuliro; sinakusaba ku ndowooza yo! Abaffe! - Abakungu okuva mu Bank of Uganda bavunaaniddwa nebateebwa ku kakalu ka Kkooti. - Sipiika agamba waliwo ababaka abetuminkiriza nebawandiikira Pulezidenti nga bamutegeeza ku bigenda mu maaso mu Palamenti. Bino n'ebirala by'oba olindirira.

 
 
EBYA BANK OF UGANDA KATEMBA YENNYINI
EBYA BANK OF UGANDA KATEMBA YENNYINI
06/22/2019 | 01:27:59

Episode Notes

GasimbaganeNeBannamawulire ne Peter Kibazo;

Nsonga ki esinze okukwata omugamba wiiki eno?! Abakungu babiri okuva mu Bbanka Enkulu batwaliddwa mu Kkooti evunaana abakenuzi n'abali b'enguzi nga bavunaanibwa okulagajalira emirimu gyabwe bwebateeka ebyamaguzi eby'abantu abalala ku nnyonyi okwali ebitereke bya Bbanka enkulu. Sipiika Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga yasazizaamu eky'okusasulira ababaka omusolo gwa OTT n'ebirala bingi tosubwa.

 
 
ABAKULIRA BANK OF UGANDA BEKUBIDDEYO EZAABWE OBUWUMBI 90
ABAKULIRA BANK OF UGANDA BEKUBIDDEYO EZAABWE OBUWUMBI 90
06/15/2019 | 01:39:42

Episode Notes

Abakulu Bank of Uganda bekubiddeyo obuwumbi 90 eby'ensimbi za Yuganda ezaabwe ku baabwe. CID ne Anti Corruption Unit mu State House batandise okunoonyereza. Kiri Yuganda. Peter Kibazo, Haruna Kanaabi, Muwanga Kivumbi, Charles Rwomushana, ne Aisha Kabanda

 
 
GASIMBAGANE OKWOGERA KWA PULEZIDENTI
GASIMBAGANE OKWOGERA KWA PULEZIDENTI
06/08/2019 | 01:46:44

Episode Notes

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; "Musaana mwewale okwefuula ab'ekitalo nga mukulembera abantu, mubeere betowaze. Tewefuula amanyi ennyo buli kimu." Bannamawulire abakugu bakubaganya ebirowoozo ku kwogera kuno.

 
 
GASIMBAGANE EPISODE 1
GASIMBAGANE EPISODE 1
06/04/2019 | 01:40:06

Episode Notes

Wuliriza Bannamawulire abakugu, abanoonyereza wamu n'ababaka bo nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ezibaddewo mu ggwanga okumala wiiki nnamba. Tosubwa Ahmad Kateregga Musaazi, Charles Rwomushana, Namayanja, Siraje Lubwama, Hon. Muwanga Kivumbi, John Kakande, Harunah Kanaabi ne Peter Kibazo. Nnyumirwa

 
 
About us Terms and Conditions