< Back

Wolokoso

Wolokoso

Radio Simba
 
Ono ye Wolokoso, manya ebifa e Yuganda ku Celeb wo. Ani yakoze amawulire wiiki ewedde. Gano gaba matuufu anti beyogerera.
 
EDDY KENZO MUSAJJA WANKWE NNYO - AZIZ AZION
EDDY KENZO MUSAJJA WANKWE NNYO - AZIZ AZION
02/22/2020 | 00:47:06

Episode Notes

Aziz Azion avuddeyo nalangira Eddy Kenzo obutasiima so nga mbu ye yamufuula kyali mu kuyimba. Nti era amwewuunya okutijjisa Bobi Wine nti yamukoolera bingi mu kuyimba. Kenzo ye agamba nti Aziz yamugoba. Pallaso bamukubidde e South Africa wabula Abantu ab'enjawulo nebavaayo nga bawa ensonga ezavuddeko ono okukubwa. Yataasiddwa Mc Norman Ganja ne banne abamututte mu Ddwaliro.

 
 
CLEVER J AFUNYE MANAGER OMUGGYA, SSEBUNYA AZIMBYE OMUTIMA
CLEVER J AFUNYE MANAGER OMUGGYA, SSEBUNYA AZIMBYE OMUTIMA
02/15/2020 | 00:39:34

Episode Notes

Clever J afunye manager agenda okumukomyawo mu muziki, wabula Ssebunya eyamukomyawo mu mawulire azimbye omutima ayagala kulemesa ndagaano.

 
 
JOSE CHAMELEONE MWESOBOLERA MUMUMPE MU BATTLE CLEVER J
JOSE CHAMELEONE MWESOBOLERA MUMUMPE MU BATTLE CLEVER J
02/08/2020 | 00:47:04

Episode Notes

Clever J avuddeyo nagamba nti ye muyimbi wamaanyi teyetaaga Collabo na Jose Chameleone kusituka, wabula bamubuulire olunaku lwaba ateekayo battle bambalagane amulage omuziki.

 
 
RONALD MAYINJA AKOLIMIDDE BAJJO EVENTZ
RONALD MAYINJA AKOLIMIDDE BAJJO EVENTZ
02/01/2020 | 00:37:53

Episode Notes

Omuyimbi Hassan Ndugga avuddeyo nakukulumira Bebe Cool nti musajja mubi nnyo atayagaliza banne kufuna. Ndugga ne Njuba Jamil bagamba nti bayimba e Namboole ku National Conference ya National Resistance Movement - NRM wabula nti Bebe Cool bwebamukwasa obukadde 37 asasaule abayimbi teyabakombya wadde ekikumi. Ndugga agamba nti kino kyandibasindikiriza okudda mu People Power - Uganda ewa Bobi Wine okutuusa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nabayita.

 
 
KUSAASIRA NE BANNE BAAGALA KUBBA KINTU KYANGE - RONALD MAYINJA
KUSAASIRA NE BANNE BAAGALA KUBBA KINTU KYANGE - RONALD MAYINJA
01/18/2020 | 00:50:18

Episode Notes

Notes go here

 
 
JUMA BALUNYWA MULOGO - BAKIDDAWO
JUMA BALUNYWA MULOGO - BAKIDDAWO
01/11/2020 | 00:47:32

Episode Notes

Balunywa Juma Kinyiri aka Balunywa promotions international waliwo omusawo w'Ekinnansi Kiwanuka amulumiriza okumokolako nafuna obukadde bw'ensimbi mbu natamusasula. Hoooo Waliwo omusajja avuddeyo nategeeza nti John Kasaada aka John Blaq si Musoga nti era nebyagamba nti yayimba bigambo bya Lusoga tebibangayo.

 
 
BEBE COOL ALINA OMUZIMU GWOKUSABIRIZA - ABTEX
BEBE COOL ALINA OMUZIMU GWOKUSABIRIZA - ABTEX
01/04/2020 | 00:48:52

Episode Notes

Bebe Cool agamba nti Yvonne Chaka Chaka yakola ensobi okweyingiza mu by'Obufuzi bya Yuganda nga awagira Bobi Wine, n'ekirala yali agenda kuyimba Nnyimba ki. Abitex Promotions yavuddeyo nagamba nti Bebe Cool talina kyasobola okuleka okusabiriza.

 
 
2019 WOLOKOSO WRAP UP
2019 WOLOKOSO WRAP UP
12/28/2019 | 00:47:24

Episode Notes

Omwaka 2019 Celeb ki asinze okukolera amawulire. Ffe omwaka tuguzinze bwetuti.

 
 
BANNYUGANDA MBAAGALIZA KULYA MALUMA - BAJJO EVENTS
BANNYUGANDA MBAAGALIZA KULYA MALUMA - BAJJO EVENTS
12/21/2019 | 00:47:23

Episode Notes

Eddy Kenzo; "Nange nasazewo nesanyusemu banange abaana balikola ezabwe 😅😅😅

Kyoka bambi ebizibu byempisemu nayigamu alot like I learned alot man!! and I choose to enjoy my self because abantu sibangu ate okufa kyangu nyo nyo nyo so Allah Kareem

I had to share my excitement with my fans because mwe family yange. #Kavera"

 
 
JULIE ANGUME AYANJUDDE KIFAANANYI OMWAMI TALABISE
JULIE ANGUME AYANJUDDE KIFAANANYI OMWAMI TALABISE
12/14/2019 | 00:46:17

Episode Notes

Omusajja abadde alina okwanjulwa Namwandu wa Martin Angume, Julie Angume talabiseeko mu maka ga bakadde be e Kiboga. Pulezidenti Museveni afulumizza oluyimba.

 
 
BOBI WINE BWANATANDIKA OKWOGERA EBY'AMAKULU NJAKUMUWAGIRA - BEBE COOL
BOBI WINE BWANATANDIKA OKWOGERA EBY'AMAKULU NJAKUMUWAGIRA - BEBE COOL
12/07/2019 | 00:46:21

Episode Notes

Bebe Cool avuddeyo nalumba Bobi Wine, nti singa anatandika okukola ebintu ebirimu ensa, okwogera ebitamuswaza oba ebimuwebuule nga birimu ku magezi wakutandika okumuwagira wabula nti bwekitaabe ekyo obuwagizi bwetajja kubufuna. Nze naawe. Manager Francis yagobeddwa ku bwa Manger bwa Fresh Kid nga kigambibwa mbu abadde akumpanya ssente eziva mu bivvulu.

 
 
GRENADE YABBYE ENSEENENE NE PAANI
GRENADE YABBYE ENSEENENE NE PAANI
11/30/2019 | 00:50:43

Episode Notes

Okutabaaza omuggo gwa Moses, Grenade official kumuleetedde ebizibu. Namwandu wa AK47 Nnaalongo Maggie avuddeyo nategeeza nti Grenade yabala mukyala wa Sk mbuga , Vivian Mbuga empapula nti era teyakomawo newa God's Plan yayitayo oba ate oyo yamukola ki?! Nze naawe! Grenade abotodde ebyaama lwaki yadduka mu Team No Sleep mbu era Jeff Kiiwa yali amuvuga olupanka. Bobi Wine akunze Bannayuganda okugenda okukebera enkalala z'abalonzi kuba kekaseera akokwebereramu. Nubian li agamba nti ssaawa yakwebereramu. Lindirira.

 
 
BRYAN WHITE AKOZESA ERINNYA LYA PULEZIDENTI OKUBBA ABANTU - CAPT. MIKE MUKULA
BRYAN WHITE AKOZESA ERINNYA LYA PULEZIDENTI OKUBBA ABANTU - CAPT. MIKE MUKULA
11/23/2019 | 00:48:39

Episode Notes

Omugagga Brain Kirumira aka Bryan White Official yakwatiddwa Poliisi ku bigambibwa nti yatwala emotoka ya Capt. Mike Mukula ekika Benz Cross Country nga ebalirirwamu obukadde nga 600, wabaddewo n'abalala abazze nga bagamba nti bamubanja ensimbi mpitirivu olw'emotoka saako n'ebintu ebirala. King Micheal and the Dance Hall Crew avuddeyo nategeeza nti Bryan White ebimutuuseeko gakyali mabaga ajja n'ebyaama ebirala ku Bryan White. Charles Oryem aka Sipapa agamba nti ye amaze ne ssente ze emyaka 10 naye nga amubanja wa generator yekka nti wabula ye Bryan White amaze nazo emyaka 3 bamubanja buwumbi. Bino n'ebirala byoba olindirira.

 
 
LWAKI MWAYITA ABANTU ABATAAGALIZA KU MUKOLO GWA REMA - SHIEK MUZAATA
LWAKI MWAYITA ABANTU ABATAAGALIZA KU MUKOLO GWA REMA - SHIEK MUZAATA
11/16/2019 | 00:48:47

Episode Notes

Okwanjula kwa REMA Namakula ne Ssebunya kwabadde kuwanika bbango. Ba Celeb abamu befudde mukoko. Abamu ennyambala yabayiye. Sheik Muzaata atabukidde abazze ku mukolo olw'ennugu. Jennifer Full figure ayogedde oluzungu olw'ebitege nga anenya Kusaasira.

 
 
EKYANUMA BOBI WINE KUGAANA KUNKIMA KU KISAAWE - EDDY KENZO
EKYANUMA BOBI WINE KUGAANA KUNKIMA KU KISAAWE - EDDY KENZO
11/09/2019 | 00:48:05

Episode Notes

Eddy Kenzo agamba nti bangi bamuvuma naye tajja kuva mu muganda we Bobi Wine era awagira People power our power. Bobi Wine agamba nti tatidde kwavuwala kuba yamanyiira okubeerawo nga mwavu wabula nga musanyufu. Jennifer Full Figure agamba nti Bajjo Eventz Clear Process yamuzaalamu omwana, Banjo abuuza nti bwobeera mu 'Senses' zo osobola okukiriza Full figure okweyambulira?! Sam Yiga Juuko bumukeeredde, abennyumba y'omugenzi MC King Kong bamututte mu kkooti lwa YouTube Channel agikyuusizza erinnya. Bino n'ebirala birinde.

 
 
NZE MPAGIRA PEOPLE POWER SI NRM - EDDY KENZO
NZE MPAGIRA PEOPLE POWER SI NRM - EDDY KENZO
11/02/2019 | 00:47:49

Episode Notes

Producer Washington avuddeyo nasambajja ebigambibwa nti yabba ennyimba, ssente saako n'empeta y'omugenzi Mowzey Radio. Chagga Geoffrey agamba nti ebyogerebwa nti yabba Radio yemotoka n'ebirala bimuleetera okwewuunya entegeera y'abantu. Eddy Kenzo agamba nti mwetegefu okwambala ekkanzu abeewo ku mukolo gwa REMA Namakula singa anamuyita. Lindirira

 
 
BOBI WINE DDAYO MU NJAGA YO - JENNIFER FULFIGURE
BOBI WINE DDAYO MU NJAGA YO - JENNIFER FULFIGURE
10/27/2019 | 00:49:50

Episode Notes

Jennifer Fullfigure olufunye emotoka nalangira Bobi Wine obukodo era namuwa amagezi nti ave ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni adde ku njaga ye. Afulumizza n'olukalala lw'abantu ababeera ne Bobi Wine naye nga babeerayo lwanakola ntya nga bano kuliko Geofrey Kayemba Ssolo, Patriko Mujuuka n'abalala. Shiek Muzaata oluvudde ku Eddy Kenzo kati ate alumbye Omusumba w'Abalokole Pastor Yiga Augustine.

 
 
NZE NE REMA TWALI BAWOOWE - EDDY KENZO
NZE NE REMA TWALI BAWOOWE - EDDY KENZO
10/20/2019 | 00:47:12

Episode Notes

Eddy Kenzo agamba nti ye ne Rema Namakula baali bawoowe, wabula yewuunya Shiek Muto okuvaayo neyegaana. Wabula oluvannyuma Kenzo yavuddeyo nategeeza nti abantu bakkakane kuba abakulu ab'enjawulo bavuddeyo nebamuwabula ku nsonga ze ne Shiek Muzaata.

 
 
MUZAATA AKOLERA MUCEERE - PENG PENG
MUZAATA AKOLERA MUCEERE - PENG PENG
10/12/2019 | 00:48:27

Episode Notes

Sheik Muzaata okulumba Eddy Kenzo mu kukyala kwa REMA Namakula atuuke okumugamba agende awase nnyini yagalinnya gyegava, PENG PENG VIBES, Jennifer Fulfigure, Swahaba Kasumba, Big Eye StarBoss bamulumbye. Mbu ebitole by'emmere bimu...... Hahaha leero luno ow'erimu anatemya ku waabiri. Poliisi okugoberera Bobi Wine mu kibuga yali ekuuma bulamu bwe kuba yali atambulira ku Boda Boda ngedduka - Mwogezi wa Poliisi.

 
 
BOBI WINE BAMUGYIDDEKO MICROPHONE KU KIVVULU KYA MADDOX
BOBI WINE BAMUGYIDDEKO MICROPHONE KU KIVVULU KYA MADDOX
10/05/2019 | 00:45:27

Episode Notes

Bobi Wine yasituse okugenda okufuuwa Maddox ku Sheraton, Maddox namusaba abuuze ku bantu abategesi nebajjako emizindaalo n'ebyuuma. Dr. Jose Chameleone avuddeyo nayambalira Balaam Barugahara lwaki amulanga okuyimba e Kololo nga tali nawo hooo lunaggwa luno. Bobi Wine agamba nti ku Independence kiggwera Busaabala ku One Love Beach Busabala mu osobola concert nti era Poliisi ya

 
 
WINNIE NWAGI AKUBYE OMUKOZI WE OKUBULA OKUMUTTA
WINNIE NWAGI AKUBYE OMUKOZI WE OKUBULA OKUMUTTA
09/28/2019 | 00:47:23

Episode Notes

Omuyimbi Winnie Nwagi mbu akubye omukozi we egisigaddewo negifumba. Omukozi ali ku kitanda apookya. SK Mbuga ateereddwa era nga kati ali mu Ggwanga.

 
 
HE YK MUSEVENI BEBE COOL AMUYISE BOBI WINE
HE YK MUSEVENI BEBE COOL AMUYISE BOBI WINE
09/21/2019 | 00:44:34

Episode Notes

Pulezidenti Museveni byeyabadde ku kivvulu kya Catherine Kusasira ku Serena ekiro kyajjo nga anyumya ku bivvulu byagenzeemu kata mutabani we Bebe Cool amuyite Bobi Wine abantu nebakuba enduulu. Catherine Kusasira Sserugga asitudde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Omuggagga Kirumira agamba nti omukulo gwa REMA Namakula bagutaddemu ssente nnyingi nawa Eddy Kenzo amagezi nti bibaawo afune omulala kasita ali mu America. Lindirira

 
 
HAJJI HARUNAH TANKUBA MUGGO GWA MUSA - KEMI SERA
HAJJI HARUNAH TANKUBA MUGGO GWA MUSA - KEMI SERA
09/14/2019 | 00:44:21

Episode Notes

Ebya REMA Namakula okufumbirwa Ssebunya bizeemu omukoosi, waliwo avuddeyo okulwanirira Eddy Kenzo ensonga azikwasizza Bannamateeka, Kemi Sera agamba nti Hajji Haruna Mubiru - Kream Production tamukubanga muggo gwa Musa, Grace khan ye akirizza nti Kojja Kitonsa omuggo gwa Musa agumuwa mubujjuvu ye abatali baana bato! Mpozzi n'ekirala ....... Lindirira

 
 
REMA ONDESE BUBI NNYO - EDDY KENZO
REMA ONDESE BUBI NNYO - EDDY KENZO
09/07/2019 | 00:47:04

Episode Notes

Omuyimbi Stabua Natooro Ug avuddeyo nasomera bayimbi banne Eddy Kenzo wamu ne REMA Namakula nga agamba nti ayagala baddigane lubbaggwa luno!? Omutegesi w'ebivvulu Bajjo Eventz Clear Process avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kudda mu kkooti kuba akooye ye kyayise okumuzunza nga mpaawo kyebamuvunaana.

 
 
KING MICHEAL ALINA EBISIRAANI - FUL FIGURE
KING MICHEAL ALINA EBISIRAANI - FUL FIGURE
08/31/2019 | 00:44:22

Episode Notes

Jennifer Full figure awabudde DJ Micheal, nti yalibadde akimanya nti alina ebisiraani nava kukutegeka ebivulu, Tonny Ssempijja alumbye Ragga Dee namuyita ekibookisi.

 
 
KING MICHEAL OWA SILENT MAJORITY AYIMBIDDE BUTEBE
KING MICHEAL OWA SILENT MAJORITY AYIMBIDDE BUTEBE
08/24/2019 | 00:44:53

Episode Notes

Abawala abaali mu Dream Girls abakuyimbira akayimba ka Weekend eyabaloga ali ku nkulungo anetoloola anti emiggo gyebafuna mu bufumbo baginyumya nga lutabaalo. Anitah DA DIVA akyalulojja, nga ye Leila Kayondo alaga nkovu. Bano bakoze oluyimba ne munaabwe Renah Nalumansi mpozzi Mukama gwakyabiseeko akasubi nga tanafunayo yadde oluyi. Ekivvulu kya DJ Michael owa Silent Majority yayimbidde butebe mu Freedom City.

 
 
COMEDIAN JAJJA BRUCE AGUDDE MU BATEMU
COMEDIAN JAJJA BRUCE AGUDDE MU BATEMU
08/17/2019 | 00:44:46

Episode Notes

Ssentongo Charles aka @Jajja Bruce asimattuse abatemu, bamutemye omukono. Abayimbi balumbye offiisi z'ekitongole ekivunaanyizibwa ku biyiiye ekya URSB nga bakinenya okuggala amabbaala agakuba ennyimba zaabwe. Omukulu akikulira amannya gabayimbi gamulema okwogera, Aganaga kata omuyite Akananka... Byampuna......

 
 
BAJJO ALANGIDDE BALAM OLUGAMBO
BAJJO ALANGIDDE BALAM OLUGAMBO
08/10/2019 | 00:44:47

Episode Notes

PENG PENG VIBES avuddeyo nategeeza nti tagenda kuwemula Fulfigure wabula agenda kumuwa bwiino. Peng Peng agamba nti Juliet Zawedde bwaba nga ddala awagira Bobi Wine lwaki ate ateeka ssente mubamuvuma?! Bino byampuna! Bajjo Eventz Clear Process akyakalambidde nti Ssaabavvulu Balam mbega era yabakolako olugambo. Bino n'ebirala byonna mu Wolokoso leero.

 
 
PRODUCER EYAKUBA ENNYIMBA ZA FRESH DADDY YABBA INSTRUMENTAL
PRODUCER EYAKUBA ENNYIMBA ZA FRESH DADDY YABBA INSTRUMENTAL
08/03/2019 | 00:46:51

Episode Notes

Ekivvulu ekimanyiddwa nga ekyepukule Poliisi ekigaanyi ku bigambibwa mbu, nkiddamu mbu kirowoozebwa nti Bobi Wine ne Jose Chameleone bandiyimbayo ne kafuuka akaddaala k'ebyobufuzi. Wabula abategesi okuli Abtex ne Bajjo Eventz Clear Process bagamba nti Balam yabalemesa. Balam abawadde amagezi mugondere Gavumenti ya National Resistance Movement - NRM byonna bigenda kutereera. Bajjo agamba mbu teyewuunya Balam kuba akuze alya ku lugambo nti era yalemesa ebivvulu by'abalala. Taata wa Fresh Kid UG Mutabaazi Paul aka FRESH DADDY ayolekedde okutwalibwa mu kkooti oluvannyuma lwa Producer mu Studio ya Bad Character okulemererwa okukuba eŋŋoma ezize nakozesa ey'omuyimbi omunnakenya mu luyimba lwa #Mazike ate neyo mu Jamaica mu luyimba lw'obuccupa

 
 
BOBI WINE SIYEYATANDIKA PEOPLE POWER - JENNIFER FULL FIGURE
BOBI WINE SIYEYATANDIKA PEOPLE POWER - JENNIFER FULL FIGURE
07/27/2019 | 00:50:46

Episode Notes

Wolokoso ne Sula Ssenyonga wamu ne Kakalaamu.

Jennifer Full figure alumbye Bobi Wine ku kakiiko ke yalonze; "Oleka otya abavubuka n'olonda abakadde ebikonwa? Ye obalonda obuyinza ani yabukuwa obulondera People Power - Uganda abakulembeze?! Si ggwe watandikawo People Power Our Power. Kyova olaba nti ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agenda kuwangula mu 2021." PENG PENG VIBES ayambalidde Bajjo Eventz Clear Process, Full figure ne Abtex Promotion; "Njakubaanika nti mubaddw mukungaanya ssente mu Bantu abali ebweru nti zigenda kuyamba Bobi Wine. Mutwale eri ......." Lunaggwa lino!?

 
 
HAJAT STECIA ALANGIDDE HAJJI HARUNAH OBUKAFIRUUNA
HAJAT STECIA ALANGIDDE HAJJI HARUNAH OBUKAFIRUUNA
07/20/2019 | 00:46:59

Episode Notes

Wolokoso ne Sula Ssenyonga wamu ne Kakalaamu;

Stecia Mayanja addizza Hajji Haruna Mubiru - Kream Production omuliro nti ye tabeerako mu Kream Production era takolagana nabakaafiruuna nga Haruna Mubiru kuba bw'owulira ekigambo ku musiraamu munno mufune mwogere. Omulangira Ssuuna agamba nti Good life Radio & Weasel mu birungi bweyabakolera okuli okubakubira ennyimba za Nakudata ne Ngamba mu situdiyo bamuwaayo nnusu 6000.

 
 
KATO LUBWAMA ASABIRA BAJJO BAMUZEEYO E LUZIRA
KATO LUBWAMA ASABIRA BAJJO BAMUZEEYO E LUZIRA
07/13/2019 | 00:52:17

Episode Notes

Wolokoso ne Sula Ssenyonga wamu ne Kakalaamu;

Omubaka wa Lubaga South Kato Lubwaama avuddeyo nategeeza nti tasobola kusannyukirako Bajjo Eventz Clear Process kuva mu kkomera kuba yandibadde akyaliyo. Yebuuza oba addayo ddi?! Ebyokulonda abakulembera Bannakatemba mu Kampala bigweredde mu bikonde, Kato Lubwama azze n'olukalala lwe. Tosubwa Kati osobola okuwuliriza Woloko ku www.afkloud.com.

 
 
JOSE CHAMELEONE YEGASSE KU DP
JOSE CHAMELEONE YEGASSE KU DP
07/06/2019 | 00:50:01

Episode Notes

Wolokoso ne Sula Ssenyonga wamu ne Kakalamu;

Ronald Mayinja agamba nti talabanga ku bantu bakuluppya nga Uprs Uganda omwaka omulamba afuna atya emitwalo k........ gyokka ez'omwaka 2018 ate nebamutemako n'omusolo!? Gerald Kiweewa agamba nti ezize zagwereddewo mu bbaala tamanyi zaabadde mmeka? Jose Chameleone ayaniriziddwa aba Democratic Party Uganda - DP.

 
 
SSENGA KULANNAMA AWASIZZA SSAABAKABONA JUMBA
SSENGA KULANNAMA AWASIZZA SSAABAKABONA JUMBA
06/29/2019 | 00:50:55

Episode Notes

Wolokoso;

Olutalo wakati wa Ssenga Kulannama n'abakyala beyabbako Omusajja Ssaabakabona Jjumba lunyinyitidde, Maama Fiina abiyingiddemu - bwotyo bwewewangamya ne ku Ntebe yange. Taata wa Fresh Kid UG agamba nti mu mwezi gumu gwokka e Kampala ebbango aliwanise. Fred Ssebbaale avudde mu Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye mbu alabye omusana mu National Resistance Movement - NRM ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Birindilire byonna mu #Wolokoso ne Sula Ssenyonga Mwami Nsiri ne Kakalaamu.

 
 
CHRIS EVANS AGUDDE MU BINTU WALIWO OMUKAZI AYAGALA OKUMUKUBA EMBAGA
CHRIS EVANS AGUDDE MU BINTU WALIWO OMUKAZI AYAGALA OKUMUKUBA EMBAGA
06/22/2019 | 00:47:01

Episode Notes

Waliwo omukazi eyesowoddeyo nga agamba nti ayagala kukuba Chris Evans embaga n'ebyenda bimwetokote, Eddy Kenzo Musuuza essaawa yonna yandifuuka Hajji, Abtex agamba nti Kato Lubwama bwadda mu Palamenti agenda kwekumako omuliro.

 
 
WOLOKOSO EPISODE 3
WOLOKOSO EPISODE 3
06/15/2019 | 00:49:01

Jennifer Full Figure avuddeyo neyetondera Kusaasira, Mary Bata wamu ne Sophie Gombya olw'okubavumanga. Asabye Kusaasira yegatte ku People Power. Abaana b'omugenzi Paul Job Kafeero baagala baziikule ebisigalira bya kitaabwe bakolebweko DNA Test. Byonna mu Wolokoso

 
 
WOLOKOSO CHRIS EVANS KAWEESI AWAANYE ZANNIE BROWN
WOLOKOSO CHRIS EVANS KAWEESI AWAANYE ZANNIE BROWN
06/08/2019 | 00:45:41

Episode Notes

Wolokoso;

Omuyimbi Chris Evans Kaweesi avuddeyo n'awandiikira muyimbi munne Zannie brown ebbaluwa; Ebbaluwa eri Zannie Brown. Ow'omukwano Zannie Brown, ekizinga ky'obulungi! Olunaku olwaleero nvuddeyo mu lwatu okusiima n'okutegeeza nti gwe muyimbi asinga obulungi mu bayimbi abakyala mu Yuganda. Simanyi bw'okikola! Osigala oli mulungi ne bwoba wekozeeko oba nga tewekozeeko. Kankutegeeze leero nti buli kifaananyi kyo ky'oteeka ku social media nkiwanulayo nenkitereka mu ssimu yange nga ekijjukizo. Abayimbi abakyala abalala balungi, naye ndowooza nabo bakiriza nti obasingako. Nzikiriza nti nebwewalibadde muddugavu, walisigadde oli mulungi, ng'oyakayakana Eggandaalo kya wiiki eddungi. Chris Evans Kaweesi.

 
 
WOLOKOSO EPISODE 1 CHAMELEONE BEATS A PHOTOGRAPHER
WOLOKOSO EPISODE 1 CHAMELEONE BEATS A PHOTOGRAPHER
06/04/2019 | 00:49:16

Episode Notes

Ono ye Wolokoso, manya ebifa e Yuganda ku Celeb wo. Ani yakoze amawulire wiiki ewedde. Gano gaba matuufu anti beyogerera. Dr. Jose Chameleon, Lord Mayor to be mbu yakubye omukubi w'ebifaanayi empi n'ensambaggere e Budaka mbu ate nabaako omukazi gwayagala okubala empapula. Abaffe! Gano n'amalala byonna mu Wolokoso

 
 
About us Terms and Conditions